bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 3
Hebrews 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Kale nno, abooluganda abatuukirivu, abagabana ku kuyitibwa okumu okw'omu ggulu, mwetegereze Yezu omutume era kabona omukulu ow'enzikiriza yaffe.
2
Yali mwesigwa eri oyo eyamuteekawo, nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
3
Kyokka ye yasaanira okuba n'ekitiibwa ekisinga ekya Musa, ng'era omuzimbi w'ennyumba bw'aba n'ekitiibwa okusinga ennyumba yennyini.
4
Anti buli nnyumba ebaako agizimba ggwe wamma, naye byonna eyabizimbawo ye Katonda.
5
Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, kyokka ng'omuweereza, akakase ebyali bigenda okwogerwa.
6
Naye Kristu yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda ng'omwana. Ffe nnyumba ye kasita tusigala bulijjo nga tunyweredde mu bwesige n'okwenyumiriza essuubi lyaffe bye lituwa.
7
Kale nno, nga Mwoyo Mutuukirivu bw'agamba: “Olwa leero singa muwulira eddoboozi lye,
8
muleke kugugubya mitima gyammwe nga mu kujeema, ku lunaku olw'ekikemo mu ddungu,
9
bajjajjammwe gye bankemera, nga bangeza, sso baalaba bye nkola mu myaka amakumi ana.
10
Kyennava nsunguwalira ezzadde eryo, ne ŋŋamba nti: ‘Bulijjo bawaba mu mitima gyabwe; tebamanyi makubo gange.’
11
Kyennava ndayira mu busungu bwange nti: ‘Tebaliyingira n'akamu mu kiwummulo kyange.’ ”
12
Kale nno, abooluganda, mwekkaanye mu mmwe muleme kubaamu alina mutima mubi, ogutakkiriza, n'abaleetera okugwa nga muva ku Katonda omulamu.
13
Wabula munywezagane buli lukya, ebbanga lyonna ng'olunaku lukyali 'olwa leero', mu mmwe wabulewo aguguba olw'okusendebwasendebwa ekibi.
14
Ffenna tugabana ku Kristu, kasita obwesige bwe twalina mu masooka tubunywererako okutuusa ku nkomerero.
15
Bwe bagamba nti: “Olwa leero singa muwulira eddoboozi lye, muleke kugugubya mitima gyammwe, nga ku luli olw'okujeema,”
16
baki abo abaawulira ate ne bajeema? Si be bo abaali bamaze okuva e Misiri nga bakulemberwa Musa?
17
Abaamusunguwaza okumala emyaka amakumi ana baki? Si be bo abaakola ekibi emirambo gyabwe ne gisigala nga gigudde mu ddungu?
18
Ate b'ani be yalayirira obutayingiza mu kiwummulo kye? Si be bo abaagaana okumuwulira?
19
Tulaba nno nga tebaasobola kuyingira olw'obutakkiriza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13