bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 6
Hebrews 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
Awo nno tuve ku bino ebisookerwako bye twayiga ku Kristu, tulinnyuke ku by'ekikulu nga tetuzzeemu ate ku bye twasokerako eby'okwekomako ku bikolwa ebifu era n'okukkiriza Katonda,
2
okunnyonnyola batismu, okussibwako emikono, okuzuukira kw'abafu, n'okulamulibwa okutaggwaawo.
3
Kino tulikikola nga Katonda ayagadde.
4
Kubanga kizibu okukomyawo nate abo olumu abaamulisibwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bagabana ku Mwoyo Mutuukirivu,
5
ne balega ku bulungi bw'ekigambo kya Katonda n'amaanyi ag'emirembe egirijja,
6
ate ne bagwa, okubazza omulundi omulala ne beenenya, anti baba ku bwabwe bakomerera Mwana wa Katonda ku musaalaba na kumusekerera.
7
Ettaka erinywa enkuba eritonnyako bulijjo, ne lizza ebimera ebigasa abalirima, lifuna omukisa okuva ewa Katonda.
8
Naye bwe lizza amaggwa n'amatovu, teririna kye ligasa, ligwanye kuvumirirwa. Enkomerero yaalyo kubeera kwokebwa muliro.
9
Abaagalwa, lwa kwogera tutyo, naye ku mmwe tukakasa nga muli ba kufuna ebirungi ebisingawo eby'okulokoka.
10
Kubanga Katonda si gw'ogamba nti si mwenkanya, eyeerabira omulimu gwe mukoze, n'okwagala kwe mulaga mu linnya lye, nga muweereza abatuukirivu era nga bwe mukyabaweereza.
11
Twegomba nti buli omu mu mmwe alage obunyiikivu bwe bumu okutuusa ku nkomerero okulaba nga bye musuubira bituukirizibwa,
12
ne mutabeera awo nga mugayadde, wabula abalabira ku abo olw'okukkiriza kwabwe n'obugumiikiriza abasikira ebisuubizo.
13
Katonda bwe yali asuubiza Yiburayimu, olw'obutabaawo amukira gwe yandirayidde, kyeyava yeerayirira yennyini nti:
14
“Ddala nzija kukuwa omukisa, nkuwe n'okwala.”
15
Bw'atyo Yiburayimu olw'okugumiikiriza yafuna ekyamusuubizibwa.
16
Abantu bo balayira oyo abasingako obukulu; abantu bwe baba mu mpaka zaabwe, ekirayiro kye kikakasa eky'enkomerero.
17
Ne Katonda bwe yayagala okukakasa abalisikira ebisuubizo nga ky'ateesa bwe kitakyuka, yayingizaawo ekirayiro;
18
bwe kityo mu bibiri ebitakyuka Katonda mw'atayinza kulimbira, ffe abanoonya obwewogomo tulyoke tugumizibwe n'amaanyi, tunyweze essuubi erituweereddwa.
19
Essuubi eryo ye nnanga y'omwoyo gye tulina ennywevu etesagaasagana; essuubi eriyingirira ddala munda emabega w'olutimbe,
20
Yezu eyatukulemberamu gye yayingira ku lwaffe, ng'amaze okufuuka kabona omukulu emirembe gyonna mu lubu lwa Melekisedeki.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13