bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 7
Hebrews 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Ono Melekisedeki, kabaka w'e Saalemu, kabona wa Katonda Ali Waggulu ddala, yasisinkana Yiburayimu ng'adda eka ng'amaze okugoba bakabaka, n'amuwa omukisa;
2
ne Yiburayimu n'amwawulizaako ekitundu eky'ekkumi ku bintu byonna. Okusooka, erinnya lye livvuunulibwa nti 'kabaka ow'obutuukirivu', era litegeeza kabaka w'e Saalemu, kwe kugamba nti 'kabaka ow'emirembe'.
3
Talina kitaawe, talina nnyina, talina lulyo, talina lunaku lwe yasookerako yadde enkomerero y'obulamu bwe. Ali ng'Omwana wa Katonda; asigala kabona ennaku zonna.
4
Mulabe bw'ali omukulu! Oyo Kitaffe Omukulu Yiburayimu gwe yawa n'ekyekkumi eky'omunyago gwe.
5
Ate n'abaana ba Leevi bwe baafunanga obwakabona baalagirwanga okuggya ekyekkumi ku bantu ng'Etteeka bwe ligamba. Kwe kugamba nti bakiggya nno ku baganda baabwe, sso nga nabo bazzukulu ba Yiburayimu.
6
Sso ono atali wa lulyo lwabwe, yaggya ekyekkumi ku Yiburayimu, n'amuwa n'omukisa, Yiburayimu eyali asuubiziddwa.
7
Tewali kuwannaanya nti omuto y'afuna omukisa ew'omukulu.
8
Wano abafuna ekyekkumi be bantu abafa; naye wali, afuna aba akakasibwa ng'akyali mulamu.
9
Oyinza okugamba nti Leevi oyo yennyini afuna ekyekkumi naye yakiweera mu Yiburayimu,
10
Kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe Yiburayimu Melekisedeki lwe yamusisinkana.
11
Singa obwakabona bwa Leevi bwali bumala okutuusa ku kutuukirira mu bujjuvu, - anti mu bwo Etteeka mwe lyaweerwa abantu, - ate kiki ekyandireesezza kabona omulala ow'omu lubu lwa Melekisedeki atamenyerwa mu lubu lwa Aroni?
12
Obwakabona bwe bukyuka, n'etteeka ggwe wamma lirina kukyuka.
13
Anti ono gwe boogerako mu bino wa kika kirala omutavanga n'omu yali aweerezza ku mwaliiro.
14
Kimanyiddwa bulungi nga Mukama waffe yasibuka mu Yuda, ekika Musa ky'atayogerangako ku bikwata ku bakabona.
15
Ekyatangaaza byonna kwe kusitukawo kabona omulala ali mu lubu lwa Melekisedeki,
16
eyafuuka kabona, si lwa bulombolombo bwa mu Tteeka obwesiba ku ndyo z'abantu, wabula olw'amaanyi ag'obulamu obutalisaanyizibwawo.
17
Anti ye gwe bajulira nti: “Ggwe oli kabona emirembe gyonna; mu lubu lwa Melekisedeki.”
18
Ekiragiro nno eky'edda kyadibizibwa, kubanga kyali kinafu nga tekirina kye kiyamba -
19
anti Etteeka tewali kye lyamaliriza - naye waaleetebwawo essuubi erisingawo, mwe tuyima okusemberera Katonda.
20
Ate nno ekyo tekyajja nga tekuli kirayiro. Abo edda baafuukanga bakabona nga tekuli kirayiro,
21
naye ono ye yaliko n'ekirayiro, okuva ew'oyo eyamugamba nti: “Omukama yalayira, era tagenda kwejjusa: ggwe oli kabona emirembe gyonna.”
22
Olwa kino Yezu yafuuka omuyima ow'endagaano ekira.
23
Era bakabona ab'edda baali bangi, anti ng'olumbe terubaganya kusigalawo.
24
Sso ono kubanga asigalawo emirembe gyonna, n'obwakabona bw'alina bwa mirembe gyonna.
25
Awo nno abayita ku ye okusembera eri Katonda kyava aba n'obuyinza okubalokola ennaku zonna, anti nga bulijjo waali mulamu okubawolereza.
26
Twali twetaaga okuba ne kabona ow'engeri eyo, omutuukirivu, ataliiko musango, ataliiko bbala, ayawuliddwa ku boonoonyi, asukkulumye okukira eggulu,
27
ateetaaga kukola nga bakabona bali bwe baakolanga, buli lunaku okuweereza ebitambiro, ekisooka olw'ebibi bye, ate ne ky'aweereza ku lwa bantu. Ye ekyo yakikola omulundi gumu n'amala bwe yeeweereza yennyini.
28
Etteeka be lifuula bakabona abakulu baba bantu bayabayaba; naye ekigambo ky'ekirayiro ekyaddirira Etteeka kyalonda Omwana eyafuulibwa atuukiridde emirembe gyonna.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13