bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 5
Hebrews 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
1
Buli kabona omukulu aggyibwa mu bantu n'assibwawo ku lw'abantu ku bidda eri Katonda, aweereze ebitone n'ebitambiro olw'ebibi.
2
Asobola okukwata n'ekisa abatalina kye bamanyi n'abawaba, anti nga naye yennyini mu buli wantu muyabayaba.
3
Kyava talema kutambira lwa bibi bye yennyini nga bw'akola olw'ebibi by'abantu abalala.
4
Tewali yeewa kitiibwa ekyo, wabula ayitibwa Katonda nga bwe kyali ku Aroni.
5
Ne Kristu bw'atyo si ye yeegulumiza okufuuka kabona omukulu; wabula oli eyamugamba nti: “Oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde;”
6
era nga bw'agamba n'awalala nti: “Ggwe oli kabona emirembe gyonna mu lubu lwa Melekisedeki.”
7
Ebbanga lye yamala ng'ali mu mubiri, yaweereza okwegayirira n'okuwanjaga mu kuleekaana n'amaanyi ne mu maziga eri oyo eyalina obuyinza okumuwonya olumbe; yawulirwa kubanga yatya Katonda.
8
Nandibadde yali Mwana, yayiga obuwulize ng'ayita mu ebyo bye yabonaabonamu.
9
Ng'amaze okumalirizibwa mu bujjuvu, bonna abaamugondera yabafuukira nsulo ya kulokoka okw'emirembe gyonna,
10
ne Katonda n'amulangirira nti ye kabona omukulu mu lubu lwa Melekisedeki.
11
Ku nsonga eno tulina bingi eby'okwogera ate nga bizibu okunnyonnyola, kubanga kati mukaluubirirwa okuwulira.
12
Kati obudde we butuuse mazima mwandibadde bayigiriza, naye laba mukyetaagisa okuddamu okuyigirizibwa ekigambo kya Katonda okuviira ddala ku bisooka. Mwetaaga mata si mmere ŋŋumu.
13
Mu mazima, oli akyali ku mata taba mukugu mu kigambo kya butuukirivu, kubanga akyali muwere.
14
Naye emmere eŋŋumu ye y'abakuza; ey'abo, olw'ebyo bye bayiseemu, emitima gyabwe egitendekeddwa mu kwawula ekirungi ku kibi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13