bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 2
Hebrews 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
Awo nno ffe tuteekwa okussa omwoyo ku ebyo bye twawulira, sikulwa nga tubyebengulako.
2
Obanga kale biri bamalayika bye baalangirira byali bisiba ng'etteeka, nga buli kubimenya n'obutabigondera bibonerezebwa mu ngeri esaanide,
3
leero ffe tunaawonera wa bwe twekolera ne tugayaalirira ekigambo eky'okulokoka ekikulu kityo? Kwasooka kulangirirwa Mukama, ne kututegeezebwa bali abaamuwulira.
4
Ne Katonda yakakasa bye boogedde ng'akola obubonero, ebyewuunyo n'ebyamagero ebitali bimu, n'ebitone bya Mwoyo Mutuukirivu bye yagabanga nga bwe yayagalanga.
5
Ensi erijja gye twogerako bamalayika Katonda si be yagikwasa.
6
Waliwo awajulizibwa, omu ng'agamba nti: “Omuntu ye ani gw'ojjukira, oba omwana w'Omuntu ye ani gw'ossaako omwoyo?
7
Wamubuzaako katono okuba nga bamalayika; wamutikkira ekitiibwa n'ettendo;
8
byonna n'obissa wansi w'ebigere bye.” Byonna bwe yabissa wansi we, tewali kye yalekayo ky'atassa mu buyinza bwe. Weewaawo kati tetulaba nga byonna biri mu buyinza bwe.
9
Naye tulaba Yezu, oyo eyamala akabanga ng'atoowaziddwa n'akirwa bamalayika, kati atikkiddwa engule ey'ekitiibwa n'ettendo ebyamuviira mu kubonaabona ne mu kufa; ye olw'eneema ya Katonda yateekwa okulega ku lumbe ku lwa buli muntu.
10
Kubanga kyali kisaana, olw'okutuusa abaana abangi mu kitiibwa, oyo byonna gwe bibeererawo ku lulwe era abeesaawo byonna, oli eyali ow'okubakulembera abatuuse ku kulokoka kwabwe, okumufuula omutuukirivu ng'ayita mu kubonaabona.
11
Anti oli atukuza n'abo b'atukuza bonna basibuka ku kikolo kimu; kyava takwatibwa nsonyi kubayita baganda be,
12
ng'agamba nti: “Ndirangirira erinnya lyo mu baganda bange, ndikutendereza mu kibiina wakati.”
13
Era nti: “Mu ye mwe ndissa obwesige bwange.” Era nti: “Nzuuno, nze n'abaana abange Katonda be yampa.”
14
Kubanga abaana abo baali ba luse lumu, omubiri n'omusaayi, naye lwe luse lumu olwo kwe yagabana, alyoke azikirize oyo eyalina obuyinza obw'okufa, anti ye Sitaani,
15
asumulule abo abaali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'okutya okufa.
16
Mu mazima bamalayika si be yafaako, wabula yafa ku bazzukulu ba Yiburayimu.
17
Kyeyava agwanira okufaanana baganda be mu byonna, alyoke afuuke kabona omukulu omusaasizi era omwesigwa mu ebyo ebidda ku Katonda, addaabirize olw'ebibi by'abantu.
18
Kubanga yennyini yayita mu kugezebwa, kati asobola bulungi okuyamba abalala abali mu kugezebwa.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13