bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Hebrews 8
Hebrews 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Mu bye tugambye, ekikulu kye kino, nti tulina kabona omukulu ow'engeri eyo, atudde ku ddyo wa nnamulondo y'Oweekitiibwa mu ggulu,
2
omuweereza mu Kitukuvu mu Weema eya nnamaddala, etassibwawo muntu buntu, wabula Omukama.
3
Manyanga buli kabona omukulu assibwawo kuweereza bitone na bitambiro; awo nno n'ono alina okubaako ky'aweereza.
4
Ate ddala aba kubeera ku nsi, teyandibadde kabona n'akamu, anti nga kuliko bakabona abaweereza ebitambiro ng'Etteeka bwe ligamba.
5
Sso bo omulimu gwabwe guba gwa kufaanaanyiriza na kubeera bisiikirize eby'ebyo ebibeererawo ddala mu ggulu. Kubanga Musa bwe yali agenda okusimbawo Weema yalabulirwawo nti: “Wekkaanye, byonna obikolanga ng'ogoberera ekifaananyi ekikulagiddwa ku lusozi.”
6
Naye kati Kristu yafuna omulimu mu bukulu bwagwo ogusingira ddala egy'edda, anti endagaano gy'alimu ng'omutabaganya nnungi okusinga kubanga enyweredde ku bisuubizo ebikira obulungi.
7
Singa eyasooka temwali nsobi, eyookubiri teyandyetaagiddwa.
8
Naye Katonda yasangamu ensobi bw'agamba nti: “Laba, ennaku zijja, Omukama y'agamba, lwe ndikola endagaano empya n'ennyumba ya Yisirayeli, n'ennyumba ya Yuda;
9
teriba ng'endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri, kubanga tebaasigala ku ndagaano. Nange kyennava sibafaako, Omukama y'agamba.
10
Eno y'endagaano gye ndikola n'ennyumba ya Yisirayeli oluvannyuma lw'ennaku ezo, Omukama y'agamba: Amateeka gange ŋŋenda kugassa munda mu myoyo gyabwe, ngawandiike ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.
11
Buli omu talyetaaga kuyigiriza munne, oba buli omu okugamba muganda we nti: ‘Manya Omukama,’ kubanga bagenda kummanya bonna, okuva ku asembayo obuto okutuuka kw'asinga obukulu,
12
kubanga ndibasonyiwa emisango gyabwe, n'ebibi byabwe siriddayo kubijjukira”
13
Bw'ayogera ku kiggya, aba adibizza ekyasooka. Ekiba kidibiziddwa nga kigenda kikaddiwa kiba kisigalidde kusaanawo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13