bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 1
Nehemiah 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Ebigambo bya Nekemiya mutabani wa Kakaliya. Mu mwezi Kisulevi, omwaka ogw'amakumi abiri, bwe nali mu kigo ky'e Susa,
2
Kanani omu ku baganda bange n'ajja ng'ava mu Yuda, yali n'abasajja abamu; ne mbabuuza ebifa ku basajja okuva mu Yuda bakaawonawo abaali basumattuse obuwaŋŋanguse, ne ku Yeruzaalemu.
3
Ne baŋŋamba nti: “Bakaawonawo abaasumattuka obuwaŋŋanguse abaddayo mu kitundu ky'eyo, bali mu kabi kanene na mu buswavu, ne bbugwe wa Yeruzaalemu yamenyebwa, n'emiryango gyaggya omuliro.”
4
Bwe nawulira ebigambo ebifaanana bityo, natuula ne nkaaba. Namala ennaku nga nkungubaga; nasiibanga ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu.
5
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda w'eggulu, nkwegayiridde, Katonda omukulu, ow'entiisa, akuumira endagaano n'ekisa abakwagala n'abakwata ebiragiro byo,
6
okutu kwo kuwulirize n'amaaso go gazibukire essaala y'omuweereza wo eyeegayirira mu maaso go emisana n'ekiro nga nsabira abaweereza bo Abayisirayeli. Neetonda olw'ensobi z'Abayisirayeli, nange n'ab'ennyumba ya kitange ze twakusobya.
7
Twakola bubi nnyo gy'oli; tetwakwata biragiro, amateeka n'ennamula bye walagira Musa omuweereza wo.
8
“Jjukira ebigambo bye walagira Musa omuweereza wo, n'ogamba nti: ‘Bwe muliba mweyisizza bubi, ŋŋenda kubasaasaanya mu mawanga;
9
naye bwe muliba mukomyewo gye ndi ne mukwata ebiragiro byange ne mubissa mu nkola, abawaŋŋangusibwa bo ne bwe baliba ewala eggulu gye likoma, ndibakuŋŋaanyaayo eyo ne mbakomyawo mu kifo kye nalonda kibeere ekisulo ky'erinnya lyange.’
10
Abo bennyini baweereza bo era bantu bo, be wanunula n'obuyinza obungi, n'omukono gwo ogw'amaanyi.
11
Ayi Mukama, okutu kwo kuwulirize essaala y'omuwereza wo n'okw'abaweereza bo abeegomba okuwa erinnya lyo ekitiibwa; omuweereza wo muwe ebintu bimulamire olwa leero, omuwe omusajja ono amusangeko ekisa.” Nze nali omusenero wa kabaka.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13