bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 2
Nehemiah 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
Mu mwezi ogwa Nisani, mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa kabaka Arutakesasuta, evviini n'ereeterwa kabaka, ne nkwata evviini ne ngimuwa. Nali sibangako munakuwavu mu maaso ge.
2
Kabaka kwe kumbuuza nti: “Lwaki oli munakuwavu, ate nga toli mulwadde? Ekyo si kirala wabula nnaku ekuli ku mutima.” Ne ntya nnyo,
3
naye ne ŋŋamba kabaka nti: “Kabaka awangaale emirembe gyonna! Lwaki sandinakuwadde ng'ekibuga ky'ebiggya bya bajjajjange kati matongo, n'emiryango gyakyo gyasaanyizibwawo omuliro?”
4
Kabaka n'ambuuza nti: “Osaba ki kati?” Ne nsaba Katonda w'eggulu,
5
ne ŋŋamba kabaka nti: “Bwe kubeera nga kwe kusiima kwa kabaka, ng'omuweereza wo asanze ekisa mu maaso go, ntuma mu kibuga kya Yuda eri ebiggya bya bajjajjange, nkizimbe.”
6
Kabaka, ne nnaabakyala yali amutudde awo, n'ambuuza nti: “Olugendo lunaakutwalira bbanga ki, ate olidda ddi?” Kabaka n'akkiriza okunsindika, nange ne mutegeeza ebbanga.
7
Ne ŋŋamba kabaka nti: “Bwe kubeera nga kwe kusiima kwa kabaka, mpeebwe ebbaluwa nzitwalire abaamasaza Emitala w'Omugga, banzikirize okuyitawo, okutuusa lwe ndituuka mu Yuda.
8
Era nfune ebbaluwa okuva ewa Asafu akuuma ekibira kya Kabaka, ampe emiti, nsobole okuteeka emyango ku miryango gy'omunaala gw'Ekiggwa, ku lwa bbugwe w'ekibuga ne ku lw'ennyumba mwe ndisula.” Kabaka n'ampa, kubanga omukono gwa Katonda omulungi gwandiko.
9
Ne nzija eri abaamasaza Emitala w'Omugga, ne mbawa ebbaluwa kabaka gye yawandiika. Kabaka yali ansindise awamu n'abakulu mu ggye n'abeebagazi.
10
Naye Sanuballati Omukoroni ne Tobiya omukungu Omwammoni ne banakuwala bya kitalo okulaba nga waliwo omuntu azze okukolerera obulungi bw'Abayisirayeli.
11
Ne nzija e Yeruzaalemu; nga mmazeeyo ennaku ssatu,
12
ne nsituka mu kiro n'abasajja abatono be nali nabo. Saaliko gwe mbuulira Katonda wange kye yali antadde mu mutima nkikole mu Yeruzaalemu; saalina kisolo kirala kyonna, wabula ensolo kwe nali neebagadde.
13
Ekiro ekyo ne nfuluma nga mpita mu Mulyango ogw'Ekiwonvu, nzuuyo ku Luzzi lwa Ssessota, okutuuka ku Mulyango gw'Olubungo; nali nekkaanya bbugwe wa Yeruzaalemu eyali amenyeddwa, n'emiryango gyakyo egyali gisaanyiziddwawo omuliro.
14
Ne neeyongerayo okulaga ku Mulyango gw'Oluzzi ne ku Kidiba kya Kabaka, naye ensolo kwe nali ntudde tewaali kifo w'egya kuyitira.
15
Bwe ntyo ne nnyambuka ekiwonvu mu nzikiza, ne nekkaanya bbugwe; oluvannyuma ne nkomawo ne nyingira nga mpita mu Mulyango gw'Ekiwonvu.
16
Abaami baali tebamanyi gye ndaze yadde kye nkola, kubanga nali sinnabuulirako Bayudaaya, yadde bakabona, abakungu, abafuzi n'abalala bonna abaali ab'okukola omulimu.
17
Ne mbagamba nti: “Mumanyi ennaku gye tulimu, kubanga Yeruzaalemu matongo n'emiryango gyakyo omuliro gwagyokya; mujje tuzimbe bbugwe wa Yeruzaalemu, tukome okuswala.”
18
Ne mbategeeza ng'omukono gwa Katonda omulungi bwe gwandiko, n'ebyo kabaka bye yali aŋŋambye. Ne bagamba nti: “Tusitukiremu tuzimbe.” Ne beekemba okukola omulimu omulungi.
19
Naye Sanuballati Omukoroni, Tobiya omukungu Omwammoni ne Gesemu Omuwarabu bwe baawulira, ne batusekerera, ne batugaya, ne bagamba nti: “Kiki kino kye mukola? Mujeemera kabaka?”
20
Ne mbaanukula nga mbagamba nti: “Katonda w'eggulu ajja kutuwa birame; ffe tuli baweereza be, tujja kuzimba. Naye mmwe Yeruzaalemu temukirinaako mugabo, buyinza yadde ekijjukizo.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13