bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 9
Nehemiah 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogwo Abayisirayeli baakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebikutiya, nga beeyiiridde n'enfuufu.
2
Ab'endyo za Yisirayeli baali beeyawudde ku b'amawanga bonna; baayimirira ne bayatula ensobi zaabwe n'ebyonoono bya bajjajjaabwe.
3
Buli omu ng'ayimiridde mu kifo kye, baasoma mu kitabo ky'Etteeka ly'Omukama Katonda waabwe okumala ekitundu ekyokuna eky'olunaku, ate ekitundu ekyokuna ekirala ne bakimala nga beenenya ensobi n'okusinza Omukama Katonda waabwe.
4
Abaleevi Yeswa, Bani, Kadumiyeli, Sebaniya, Bunni, Serebiya, Bani ne Kenani baayimirira ku kadaala ne balaajanira Omukama Katonda waabwe mu ddoboozi eddene.
5
Abaleevi, Yeswa, Kadumiyeli, Bani, Kesabuneeya, Serebiya, Odiya, Sebaniya ne Petakiya ne bagamba nti: “Musituke, mugulumize Omukama Katonda wammwe, aliwo okuva ddi n'okutuusa ddi.” Ne baddamu nti: “Erinnya lyo ery'ekitiibwa ligulumizibwe; lisukkulumizibwe okusinga amatendo gonna n'okugulumizibwa.”
6
Awo Ezira n'agamba nti: “Wekka ggwe Mukama; watonda eggulu, n'eggulu erisukkulumye ddala, ne nnamunkukumbo waakwo, ensi na byonna ebigiriko, amayanja na byonna ebigalimu. Byonna obiwa obulamu, ne nnamunkukumbo w'eggulu akusinza.
7
“Ye ggwe Omukama Katonda, eyalonda Aburaamu; wamuggya mu Wuru eky'Abakaludeya, n'omutuuma Yiburayimu.
8
Wasanga omutima gwe mwesigwa mu maaso go, n'okola naye endagaano, ng'oli wa kuwa ezzadde lye ensi y'Abakanaani, Abakitti n'Abaamori, Abaperizzi, Abayebusi n'Abagirugasi. Watuukiriza ebigambo byo, kubanga oli mutuukirivu.
9
“Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri; watunuulira okwaziirana kwabwe ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa.
10
Wakolera Faraawo obubonero n'ebyamagero, n'eri abakungu be bonna n'abantu bonna ab'ensi eyo; kubanga wamanya bwe beekuzanga, ne weekolera erinnya erikyaliwo na kati.
11
Ennyanja wagyabuluzaamu mu maaso gaabwe, ne basomokera ku ttaka ekkalu; naye abaabawondera wabasulinka mu ddubi, ng'ejjinja mu mazzi amangi.
12
Emisana wabakulemberanga n'empagi ey'ekire ate ekiro n'empagi ey'omuliro, okubamulisiza ekkubo mwe banaayita.
13
“Wakka ne ku lusozi Sinayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu; wabawa ennamula ennuŋŋamu, enkola entuufu, amateeka n'ebiragiro ebirungi.
14
Wabamanyisa Sabbaato yo entukuvu, n'obateekera ebiragiro, enkola n'Etteeka, ng'oyita mu Musa omuweereza wo.
15
“Nga bayala, wabawa omugaati oguva mu ggulu, nga bayonta, wabaggyira amazzi mu lwazi; n'obagamba bayingire ensi bagirye, gye walayira nti oligibawa.
16
“Naye bo bajjajjaffe beekuza ne bakakanyaza ensingo zaabwe, tebaawulira mateeka go.
17
Baagaana okuwulira, tebajjukira byewuunyisa bye wali obakoledde. Baakakanyaza ensingo zaabwe ne bakyusa ebirowoozo byabwe, baddeyo mu buddu bwabwe mu Misiri. Naye kubanga oli Katonda addiramu, omusaasizi, ow'ekisa, atasunguwala mangu, ajjudde okwagala, tewabalekerera.
18
“Ne bwe beekolera akayana akasaanuuse, ne bagamba nti: ‘Ono ye Katonda wo, eyakuggyayo mu Misiri,’ ne bwe baavuma Katonda ebivumo ebinene,
19
naye ggwe, mu kisa kyo ekingi, tewabaabulira mu ddungu. Empagi ey'ekire teyabavaako, okubalaga ekkubo emisana; n'empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza ekkubo mwe banaayita.
20
Wawa Mwoyo wo omulungi abayigirize, tewaggya manu mu kamwa kaabwe, n'obawa n'amazzi okuloga ennyonta yaabwe.
21
Emyaka ana ng'obagabirira mu ddungu, ne batabaako kye bajula; ebyambalo byabwe tebyabayulikako, n'ebigere byabwe tebyazimba.
22
“Wabawa obwakabaka n'amawanga, n'obibassizaawo ng'ensalo. Baatwala ensi ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani.
23
Abaana baabwe n'obayaza ng'emmunyeenye z'eggulu; n'obaleeta mu nsi, gye wasuubiza bajjajjaabwe, nti baligiyingira ne bagirya.
24
Abaana baabwe bajja ne balya ensi; mu maaso gaabwe n'otoowaza Abakanaani abaabeerangamu, bo ne bakabaka baabwe n'abantu b'omu nsi, n'obabawa mu mikono gyabwe babakole nga bwe baagala.
25
Ne bawamba ebibuga okuli ebigo n'ensi engimu; ne beefunira ennyumba ezijjude buli kirungi, enzizi abalala ze baasima, n'enkumu y'emizabbibu, oliva, n'emiti egy'ebibala. Baalya, ne bakkuta, ne bagejja, ne basanyukira mu bulungi bwo obw'ekitalo.
26
“Kyokka tebaakuwulira, ne bakujeemera; etteeka lyo ne balikuba amabega; abalanzi bo ne babatta, abaabakubirizanga, babakomyewo gy'oli; ne bavuma Katonda ebitayogerekeka.
27
Kwe kubawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, ne bababonyaabonya. Naye nga bali mu buyinike baakoowoola gy'oli; ng'oyima mu ggulu wabawulira, mu kisa kyo ekinene n'obawa abanunuzi, abaabawonya mu mikono gy'abalabe baabwe.
28
Naye olwabanga okuweerako ne baddamu okukola ebikyamu mu maaso go; era n'obawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, ne babafuga. Nate ne bakuwanjagiranga, n'owulira ng'oyima mu ggulu, mu kisa kyo n'obanunula emirundi n'emirundi.
29
Wabalabulanga badde ku Tteeka lyo; bbo baayongera kwekuza ne batawulira biragiro byo, ne boonoona eri ennamula yo, sso ng'omuntu abituusa aliba mulamu olw'okubeera byo; ne bakukuba amabega nga bakola emputtu, ne bakakanyaza ensingo ne batakuwuliriza.
30
N'obagumiikiriza emyaka nkumu, n'obabuulirira ne Mwoyo wo, ng'oyita mu balanzi bo, naye ne batawulira; kwe kubawaayo mu mikono gy'abantu b'ensi.
31
Naye mu kisa kyo ekingi ennyo tewabazikiririza ddala, era tewabalekerera; kubanga oli Katonda wa kisa, musaasizi.
32
“Kale nno, ayi Katonda waffe, omukulu, omuzira, ow'entiisa, akuuma endagaano n'ekisa, togayaalirira bizibu bino byonna bitutuukiridde ffe ne bakabaka baffe n'abaami baffe, bakabona baffe n'abalanzi baffe, bajjajjaffe n'abantu bo bonna, okuva mu budde bwa bakabaka ba Assuri n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
33
Mu byonna ebyatugwira, wali mutuufu; kubanga wakola mu butuukirivu, naye ffe tweyisa bubi.
34
Bakabaka baffe n'abaami baffe, bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaatuusa tteeka lyo; tebaawuliriza biragiro byo na njigiriza bye wabawa;
35
Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, wakati mu birungi enfaafa bye wabakolera, mu nsi engazi, engimu, gye wabawa, tebaakuweereza, tebaaleka makubo gaabwe mabi.
36
Laba tuutuno tuli baddu leero, mu nsi gye wawa bajjajjaffe, balye ebibala byamu n'ebirungi byayo, laba, mwe tuli ng'abaddu!
37
Olw'ebibi byaffe, omwero gwayo guddira bakabaka be watussaako, bafuga emibiri gyaffe n'ebisolo byaffe nga bwe baagala, tuli mu buyinike bunene.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13