bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 12
Nehemiah 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Bano be bakabona n'Abaleevi abadda awamu ne Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli ne Yeswa: Seraaya, Yeremiya, Ezira,
2
Amariya, Malluki, Kattusi,
3
Sekaniya, Rekumu, Meremoti,
4
Yiddo, Ginnetoni, Abiya,
5
Miyamini, Maadiya, Biluga,
6
Semaaya, Yowaribu, Yedaaya,
7
Sallu, Amoki, Kilukiya ne Yedaaya. Bano baakuliranga bakabona ne baganda baabwe mu budde bwa Yeswa.
8
Abaleevi baali: Yeswa, Binnuyi, Kadumiyeli, Serebiya, Yuda, Mattaniya, ye ne banne bwe bavunaanyizibwanga ku by'ennyimba ez'okutendereza.
9
Baganda baabwe Bakubukiya ne Wunni baabayimiriranga awo mu maaso nga baweereza.
10
Ye Yeswa yazaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eliyasibu, Eliyasibu n'azaala Yoyada,
11
Yoyada n'azaala Yonatani, Yonatani n'azaala Yadduwa.
12
Mu budde bwa Yoyakimu bakabona abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe: eya Seraaya, Meraaya; olwa Yeremiya, Ananiya;
13
olwa Ezira, Mesullamu; olwa Amariya Yokanani;
14
olwa Malluki, Yonatani; olwa Sebaniya, Yozefu;
15
olwa Karimu, Aduna; olwa Meremoti, Kelukayi;
16
olwa Yiddo, Zakariya; olwa Ginnetoni, Mesullamu;
17
olwa Abiya, Zikuri; olwa Miniyamini n'olwa Mowadiya ne Pilutayi;
18
olwa Biluga, Sammuwa; olwa Semaaya, Yonatani;
19
olwa Yowaribu, Mattenayi; olwa Yedaaya, Wuzzi;
20
olwa Sallu, Kallayi; olwa Amoki, Eberi;
21
olwa Kilukiya, Kasabiya; olwa Yedaaya, Netaneli.
22
Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi n'eza bakabona mu budde bwa Eliyasibu, Yoyada, Yokanani ne Yadduwa baawandiikibwa okutuusa mu biseera bya Dariyo owa Buperusi.
23
Bazzukulu ba Leevi abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe baawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo okutuusa mu budde bwa Yokanani mutabani wa Eliyasibu.
24
Abakulu b'Abaleevi baali: Kasabiya, Sarebiya, Yeswa mutabani wa Kadumiyeli ne baganda baabwe; baayimiriranga mu maaso gaabwe mu kutendereza n'okwebaza, ng'oludda olumu luwaanyisaganya n'olulala, nga Dawudi omuntu wa Katonda bwe yaleka alagidde.
25
Mattaniya, Bakubukiya, Obadiya Mesullamu, Talumoni ne Akkubu baali baggazi era nga be bakuuma amawanika agaalinga ku miryango.
26
Bano baaliwo mu budde bwa Yoyakimu, mutabani wa Yeswa, mutabani wa Yozadaki, ne mu budde bwa Nekemiya owessaza ne Ezira kabona era omuwandiisi.
27
Ku kutukuza bbugwe wa Yeruzaalemu baanoonya Abaleevi yonna gye baali, ne babaleeta mu Yeruzaalemu batukuze mu ssanyu ne mu nnyimba ez'okwebaza, nga bayimbira ku nsaazo, entongooli n'ennanga.
28
Abayimbi nabo baakungwa okuva mu bitundu ebyetoolodde Yeruzaalemu ne mu byalo by'abantu b'e Netofa,
29
n'okuva mu Beti-Gilugali, ne mu bitundu by'e Geba ne Azumaveti, kubanga abayimbi baali beezimbidde ebyalo okwetooloola Yeruzaalemu.
30
Bakabona n'Abaleevi beetukuza, ne batukuza n'abantu, emiryango ne bbugwe.
31
Abakungu ba Yuda nabalinnyisa waggulu ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene eby'abayimbi abatendereza. Ekibinja ekimu kyali kya kukulemberamu waggulu ku bbugwe nga kidda ku ludda olwa ddyo eri Omulyango gw'Olubungo.
32
Osaaya n'ekitundu ekyokubiri eky'abakulembeze ba Yuda ne babagoberera;
33
wamu ne Azariya, Ezira, Mesullamu,
34
Yuda, Benyamiini, Semaaya ne Yeremiya,
35
ne ku bamu ku bakabona ab'amakondeere ne Zakariya mutabani wa Yonatani, mutabani wa Semaaya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mikaaya, mutabani wa Zakkuri, mutabani wa Asafu;
36
ne baganda be: Semaaya, Azareli, Milalayi, Gilalayi, Maayi, Netaneli, Yuda ne Kanani nga bali n'ebivuga bya Dawudi omuntu wa Katonda, Ezira omuwandiisi ng'abakulembeddemu.
37
Ku Mulyango gw'Oluzzi baagendera ddala ne bambuka amadaala g'Ekibuga kya Dawudi, ne balinnya ku bbugwe, ne bayita waggulu ku nnyumba ya Dawudi, ne bagguka ku Mulyango gw'Amazzi ebuvanjuba.
38
Ate ekibiina ky'abayimbi abatendereza ekyokubiri kyakumba kidda ku luuyi olulala. Nakigoberera nga nvaako emabega n'ekyokubiri eky'abantu nga tuyita waggulu ku bbugwe ne ku Munaala ogw'Obubiga okutuuka ku Bbugwe Omugazi,
39
ne waggulu w'Omulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango Omukadde, ku Mulyango gw'Ebyennyanja, ku Munaala gwa Kananeli, ku Munaala gw'Ekikumi n'okutuuka ku Mulyango gw'Endiga; ne bayimirira ku Mulyango gw'Abakuumi.
40
Ebibiina byombi eby'abayimbi abatendereza ne biyimirira mu bifo byabyo mu Kiggwa kya Katonda; era nange n'ekitundu ekyokubiri eky'abakulembeze,
41
wamu ne bakabona Eliyakimu, Maaseeya, Miniyamini, Mikaaya, Eleyowenayi, Zakariya ne Ananiya n'amakondeere gaabwe,
42
wamu ne Maaseeya, Semeeya, Eleyazari, Wuzzi, Yokanani, Malukiya, Elamu ne Ezeri. Abayimbi ne bayimba bulungi nga bakulemberwamu Yezurakiya.
43
Ku olwo ne baweereza ebitambiro bingi, ne bajaguza, kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi. Abakazi n'abaana nabo ne basanyuka. Okusanyuka mu Yeruzaalemu nga kusobola n'okuwulirwa ewala.
44
Ku olwo baateeka abasajja ku mawanika g'ebitone, ebibala ebisooka n'ekyekkumi bakuŋŋaanyizeemu ebitundu ebiva mu nnimiro z'ebibuga Etteeka bye liragira biweebwenga bakabona n'Abaleevi; kubanga Yuda yali asanyukidde bakabona n'Abaleevi abaali baweereza.
45
Baakolanga omulimu gw'okuweereza Katonda waabwe n'ogw'okutukuza, era nga n'abayimbi n'abaggazi bwe baakolanga, nga Dawudi ne Solomoni mutabani we bwe baaleka bakuutidde.
46
Anti edda mu budde bwa Dawudi n'obwa Asafu waaliwo abakulembeze olw'ebibiina by'abayimbi n'olw'ennyimba ez'ettendo n'ez'okwebaza Katonda.
47
Awo nno mu budde bwa Zerubabbeli n'obwa Nekemiya Yisirayeli yenna yawanga emigabo abayimbi n'abaggazi buli lunaku. Era baayawulangako omugabo omutukuvu ogw'Abaleevi, ate n'Abaleevi ne baawulangako omugabo omutukuvu ku lw'ab'ezzadde lya Aroni.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13