bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 10
Nehemiah 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Olw'ensonga eno tukola endagaano ennywevu, ne tugissa mu buwandiike, n'abakulembeze baffe, Abaleevi ne bakabona baffe bagenda kugissaako emikono.
2
Abassaako emikono be: Nekemiya owessaza, mutabani wa Kakaliya, Zedekiya,
3
Seraaya, Azariya, Yeremiya,
4
Pasukuru, Amariya, Malukiya,
5
Kattusi, Sebaniya, Malluki,
6
Karimu, Meremoti, Obadiya,
7
Danyeli, Ginnetoni, Baruku,
8
Mesullamu, Abiya, Miyamini,
9
Maaziya, Bilugayi ne Semaaya; abo baali bakabona.
10
Abaleevi: Yeswa mutabani wa Azaniya, Binnuyi okuva mu bazzukulu ba Kenadadi, Kadumiyeli,
11
ne bannaabwe Sebaniya, Odiya, Kelita, Pelaaya, Kanani,
12
Mika, Rekobu, Kasabiya,
13
Zakkuri, Serebiya, Sebaniya,
14
Odiya, Bani ne Beninu.
15
Abakulembeze b'abantu: Parosi, Pakati-Mowabu, Elamu, Zattu, Bani,
16
Bunni, Azugadi, Bebayi,
17
Adoniya, Biguvayi, Adini,
18
Ateri, Kezekiya, Azzuru,
19
Odiya, Kasumi, Bezayi,
20
Karifu, Anatoti, Nebayi,
21
Magupiyasi, Mesullamu, Keziri,
22
Mesezabeli, Zadoki, Yadduwa,
23
Pelatiya, Kanani, Anaaya,
24
Ozeya, Ananiya, Kassubi,
25
Kallokesi, Piluka, Sobeki,
26
Rekumu, Kasabuna, Maaseeya,
27
Akiya, Kanani, Anani,
28
Malluki, Karimu ne Baana.
29
“Abantu, abalala, kwe kugamba nti bakabona, Abaleevi abaggazi n'abayimbi, abaweereza b'omu Kiggwa, n'abo bonna abeeyawula mu bantu b'omu nsi ezo olw'Etteeka lya Katonda, wamu ne bakazi baabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe, na bonna abasobola okutegeera,
30
ka beegatte ku baganda baabwe abakungu, nga beesiba n'ekikolimo oba n'ekirayiro nti ba kutambulira mu Tteeka lya Katonda lye yawa ng'ayita mu Musa omuweereza wa Katonda, nga ba kukwata n'okutuusa ebiragiro by'Omukama Katonda waffe byonna, ennamula ye n'amateeka ge.
31
Era nti tetujja kufumbiza bawala baffe bantu ba mu nsi, n'abawala baabwe tetujja kubawasiza batabani baffe.
32
“Abantu b'omu nsi bwe banaaleetanga ku Sabbaato eby'okutunda n'emmere yonna batunde, tetujja kubibagulangako ku Sabbaato ne ku nnaku entukuvu; omwaka ogwomusanvu tujja kuguwummulanga, na buli bbanja tulisonyiwe.
33
Twetema okutuukiriza ebiragiro: buli mwaka okuwangayo ekyokusatu ekya sekeli ku mulimu gw'Ekiggwa kya Katonda waffe:
34
ku lw'Emigaati gy'Okwolesebwa, ku lw'ekitone eky'obuwunga eky'etteeka, ku lw'ebitambiro ebyokye ebya buli lunaku, ku lw'ekitambiro ky'oku Sabbaato eky'etteeka, ku mbaga y'Okuboneka kw'Omwezi, ku mbaga enkulu eziragiddwa, ku lw'ekitambiro ekitukuvu, ku lw'ekitambiro olw'ekibi okuddaabiriza olwa Yisirayeli, ne ku lwa buli kidda ku Kiggwa kya Katonda waffe.
35
“Ffe, bakabona, Abaleevi n'abantu abalala bonna tukubye obululu okuwa buli nnyumba ya bajjajjaabwe ekiseera mu mwaka w'eneereeteranga enku ez'okukozesanga ku mwaliiro gwa Katonda waffe, nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka.
36
Tujja kuleetanga buli mwaka mu Kiggwa kya Katonda waffe amakungula agasooka ag'ettaka lyaffe, n'ebibala ebisooka ebya buli muti oguleeta ebibala.
37
Nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka, tujja kuleetanga mu Kiggwa kya Katonda waffe, eri bakabona abaweerezaamu, abaggulanda baffe mu baana baffe, na buli kiggulanda mu nte, endiga n'embuzi zaffe.
38
Tujja kuleetanga mu mawanika g'Ekiggwa kya Katonda waffe, eri bakabona, ebisooka eby'obutta bwaffe, n'ebitone byaffe, ne ku bibala eby'emiti, ne ku vviini gye twakasogola, ne ku muzigo gw'oliva. Tujja kuwanga Abaleevi ekyekkumi ku birime byaffe, anti Abaleevi be bakuŋŋaanya ekyekkumi mu bibuga byonna gye tukolera.
39
Kabona asibuka mu Aroni ajja kubeeranga n'Abaleevi ng'Abaleevi bakuŋŋaanya ekyekkumi. N'Abaleevi ba kuleetanga ekyekkumi mu Kiggwa kya Katonda waffe bakisse mu materekero g'enkuluze.
40
Abayisirayeli ne bazzukulu ba Leevi, ebitone eby'ebisooka eby'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo, banaabitwalanga mu mawanika awaterekebwa ebintu by'omu Kitukuvu, bakabona, abaweereza, abaggazi n'abayimbi gye babeera. Tetujja kusuulirira Kiggwa kya Katonda waffe.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13