bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 5
Nehemiah 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
1
Ne wabaawo okwemulugunya kunene okuva mu bantu ne mu bakazi baabwe ku Bayudaaya bannaabwe.
2
Waaliwo abaagambanga nti: “Ffe wamu ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi; okubaako ke tulya tubeere balamu, tulina okufuna eŋŋano.”
3
Abalala baagambanga nti: “Ennimiro zaffe, emizabbibu n'ennyumba zaffe twabisingayo tufune eŋŋano mu biseera eby'enjala.”
4
Abandi bo nga bagamba nti: “Twewola ssente tusobole okusasula empooza ya kabaka ku nnimiro zaffe n'emizabbibu gyaffe.
5
Newandibadde tuli ba mubiri gumu na musaayi gumu ne baganda baffe, ng'abaana baffe kye kimu n'abaabwe, naye batabani baffe ne bawala baffe tulina kubasingayo mu buddu. Bawala baffe abamu baatundibwa dda mu buddu, tetulina kye tuyinza kukola, kubanga ennimiro zaffe n'emizabbibu balala be babirina.”
6
Bwe nawulira okwemulugunya kwabwe n'ensonga zino ne nsunguwala nnyo.
7
Nazeefumiitirizaako mu mutima gwange, ne nvunaana abakungu n'abalamuzi. Nabagamba nti: “Mwenna buli omu mwaliika baganda bammwe ekiyitiridde.” Ne nkuŋŋaanya olukiiko lunene okubavunaana.
8
Ne ŋŋamba nti: “Tukoze kyonna kye tusobola, tununudde baganda baffe Abayudaaya abaali batundiddwa mu mawanga; ate kati mmwe mutunda baganda bammwe ate bo babatuguze?” Ne basirika, kubanga tebaalina kya kwogera.
9
Ne mbagamba nti: “Kye mwakola si kirungi. Tekyandisinze ne mutambulira mu kutya Katonda waffe, abalabe baffe ab'amawanga baleme kutunyooma?
10
Nze, baganda bange, n'abaweereza bange twabawola ssente n'eŋŋano; tukomye eky'okuliika kino.
11
Olwa leero mubaddize ennimiro zaabwe, emizabbibu, ennimiro z'oliva, amayumba gaabwe n'amagoba ge mubaliika, kye kyekikumi ku ŋŋano, evviini ensu n'omuzigo bye mubasaba.”
12
Ne baddamu nti: “Tujja kubizzaayo, era tetujja kwongera kubasaba kantu; tujja kukola tutyo nga bw'ogambye.” Ne mpita bakabona, ne ndayiza abakulembeze n'abakungu bakole nga bwe basuubizizza.
13
Era ne nkunkumula ekikondoolo kyange nga bwe ŋŋamba nti: “Katonda akunkumule ennyumba na buli kikye okuva ku buli muntu ataatuukirize kigambo kino; akunkumulibwe bw'atyo asigale mulangasa.” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti: “Amiina!” Ne batendereza Katonda. Abantu ne bakola nga bwe baali basuubizizza.
14
Ate n'okuva ku lunaku kabaka lwe yannonda mbeere owessaza mu Yuda __ okuva mu mwaka ogw'amakumi abiri okutuusa mu gw'amakumi asatu mu ebiri ogwa kabaka Arutakesasuta, gye myaka kkumi n'ebiri __ nze ne baganda bange tetwalya ku mmere eyandibadde omugabo gw'owessaza.
15
Bo abaamasaza abankulembera bassa ekikoligo ekizito ku bantu, anti buli lunaku baggyanga ku bantu sekeli amakumi ana eza ffeeza nga kw'otadde evviini n'emmere; n'abaami baabwe baanyigirizanga abantu. Nze saakola ntyo olw'okutya Katonda.
16
Nze neefunyirira ku kuddaabiriza bbugwe. Basajja bange baakuŋŋaaniranga ku mulimu, ffe tetwagula nnimiro n'emu.
17
Era Abayudaaya, abakungu n'abasajja kikumi mu ataano baalyanga ku mmeeza yange, ssaako n'abaavanga mu b'amawanga agatwetoolodde.
18
Buli lunaku banzitiranga ente nnamba, endiga mukaaga n'enkoko nga ziizo. Buli nnaku kkumi baaleetanga evviini nnyingi eya buli kika. Newandibadde gwali bwe gutyo, saasabanga mmere eyandibadde omugabo gwange ng'owessaza, kubanga ebibinikiddwa byandizitoweredde abantu.
19
Ayi Katonda wange, nzijukira n'ekisa, olw'ebyo byonna bye nkoledde abantu bano.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13