bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 11
Nehemiah 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Abakulembeze b'abantu baasenga mu Yeruzaalemu; abantu abasigaddewo ne bakuba akalulu, mu buli kkumi muveemu omu ajje asenge mu Yeruzaalemu, ekibuga ekitukuvu, abalala omwenda basigale mu bibuga byabwe.
2
Abantu ne basiima abo bonna abeeronderawo okusenga mu Yeruzaalemu.
3
Bano be bakulembeze b'ebitundu abaasenga mu Yeruzaalemu n'abo abaasenga mu bibuga bya Yuda. Bo abamu ku Bayisirayeli, bakabona, Abaleevi, abaweereza b'omu Kiggwa n'ab'abaweereza ba Solomoni baasulanga buli omu mu butaka bwe, mu bibuga byabwe.
4
Mu Yeruzaalemu mwasulangamu ku bamu ku bantu ba Yuda ne ku bamu ku bantu ba Benyamiini. Ab'omu bantu ba Yuda: Ataaya, mutabani wa Wuzziya, mutabani wa Zakariya, mutabani wa Amariya, mutabani wa Sefatiya, mutabani wa Maalaleeli ava mu lulyo lwa Perezi,
5
Maaseeya, mutabani wa Baruku, mutabani wa Koli-Koze, mutabani wa Kazaaya, mutabani wa Adaaya, mutabani wa Yowaribu, mutabani wa Zakariya asibuka mu Sela.
6
Bonna abasibuka mu Perezi abaasulanga mu Yeruzaalemu nga bawera abasajja abeesobola ebikumi bina mu nkaaga mu munaana.
7
Ab'omu bantu ba Benyamiini: Sallu mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Yowedi, mutabani wa Pedaaya, mutabani wa Kolaaya mutabani wa Maaseeya, mutabani wa Yitiyeli, mutabani wa Yesaaya,
8
n'abaamugoberera: Gabbayi, Sallayi, abasajja lwenda mu abiri mu munaana;
9
Yoweli mutabani wa Zikuri, eyali omwami abakulira, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa eyali omukulu w'Eggombolola ey'Okubiri ey'ekibuga.
10
Mu bakabona: Yedaaya mutabani wa Yowaribu, Yakini,
11
Seraaya mutabani wa Kilukiya, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Zadoki, mutabani wa Meraayoti, mutabani wa Akitubu eyali omukulu w'Ekiggwa kya Katonda;
12
ne banne bwe baakolanga emirimu gy'omu Kiggwa, abasajja lunaana mu abiri mu babiri; Adaaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Pelaliya, mutabani wa Amuzi, mutabani wa Zakariya, mutabani wa Pasukuru, mutabani wa Malukiya,
13
ne banne abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri; Amasusayi mutabani wa Azareli, mutabani wa Akuzayi, mutabani wa Mesillemoti, mutabani wa Yimmeri,
14
ne banne abasajja abatabaazi abazira kikumi mu abiri mu munaana. Omwami waabwe omukulu yali Zabudiyeli mutabani wa Kaggedolimu.
15
Okuva mu Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubi, mutabani wa Azurikamu, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Bunni;
16
Sabbetayi ne Yozabadi abamu ku bakulu b'Abaleevi abaalabiriranga emirimu gy'ebweru w'Ekiggwa kya Katonda;
17
Mattaniya, mutabani wa Mika, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Asafu eyakuliranga eby'entendereza n'okwegayirira; Bakubukiya amuddirira mu banne; ne Abuda mutabani wa Sammuwa, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedutuni.
18
Abaleevi mu kibuga ekitukuvu nga bawera bonna awamu ebikumi bibiri mu kinaana mu bana.
19
Abaggazi: Akkubu, Talumoni ne bannaabwe bwe baakuumanga emiryango, abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri.
20
Abayisirayeli abalala wamu ne bakabona n'Abaleevi baabeeranga mu bibuga bya Yuda, buli omu ku butaka bwe.
21
Abaweereza b'omu Kiggwa baabeeranga ku kasozi Ofeli; Zika ne Gisupa be baakuliranga abaweereza b'omu Kiggwa.
22
Omukulu w'Abaleevi mu Yeruzaalemu yali Wuzzi, mutabani wa Bani, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mika, omu ku basibuka mu Asafu abaaweerezanga mu Kiggwa kya Katonda ng'abayimbi.
23
Kabaka ye yabawanga ebiragiro, era n'awa n'abayimbi entereeza y'emirimu gyabwe egya buli lunaku.
24
Petakiya mutabani wa Mesezabeli okuva mu basibuka mu Zeraki, mutabani wa Yuda, ye yalinga omubaka wa kabaka eyakolanga ku nsonga zonna ezikwata ku bantu.
25
Ne mu byalo okumpi n'ebibanja byabwe. Abamu ku bantu ba Yuda baasenga mu Kiriyati-Aruba n'ebibuga byakyo, Diboni n'ebibuga byakyo, Yekabuzeeli n'ebyalo byakyo,
26
mu Yeswa, Molada, Beti-Peleti,
27
Kazari-Suwali, Beeriseba n'ebibuga byakyo,
28
Zikulagi, Mekona n'ebibuga byakyo,
29
Eni-Rimmoni, Zora, Yarumuti,
30
Zanowa, Adullamu n'ebyalo byakyo, Lakisi n'ennimiro zaakyo ne Azeka n'ebibuga byakyo. Bwe batyo baasenga okuva e Beeriseba okutuuka mu Kiwonvu kya Yinnomu.
31
Ab'ekika kya Benyamiini ab'e Geba baasenga mu Mikumasi, Ayya, Beteli n'ebibuga byakyo,
32
mu Anatoti, Nobu, Ananiya,
33
Kazori, Rama, Gittayimu,
34
Kadidi, Zeboyimu, Neballati,
35
Lodi, Ono ne mu Kiwonvu ky'Abafundi.
36
Ebibinja ebimu eby'Abaleevi ab'omu Yuda baasenga mu Benyamiini.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13