bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 3
Nehemiah 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Eliyasibu kabona omukulu ne banne bakabona ne bessa ku kuzimba Omulyango gw'Endiga, ne bagutukuza, ne bassaamu emyango, ne bawangamu enzigi, ppata n'ebisiba, okutuuka ku Munaala gw'Ekikumi, ne bagutukuza, n'okutuuka ku munaala Kananeli.
2
Awamuddirira abasajja b'e Yeriko ne baddaabirizaawo; awabaddirira Zakkuri mutabani wa Yimuri n'addaabirizaawo.
3
Batabani ba Asseena ne bazimba Omulyango gw'Ebyennyanja; bassaamu emyango, ne bawangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo.
4
Awabaddirira Meremoti mutabani wa Wuriya mutabani wa Akkozi n'addaabirizaawo. Awamuddirira Mesullamu mutabani wa Berekiya mutabani wa Mesezabeli n'addaabirizaawo; awamuddirira Zadoki mutabani wa Baana n'addaabirizaawo.
5
Awamuddirira ab'e Tekowa ne baddaabirizaawo; bo abakungu baabwe tebeenyigira mu mulimu gwa Mukama waabwe.
6
Yoyada mutabani wa Pasewa ne Mesullamu mutabani wa Besodeeya ne baddaabiriza Omulyango Omukadde, ne bassaamu emyango, ne bawangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo.
7
Awabaddirira Melatiya ow'e Gibewoni ne Yadoni Omumeronoti, abasajja b'e Gibewoni n'e Mizupa abaali batwalibwa owessaza Emitala w'Omugga, ne baddaabirizaawo.
8
Awabaddirira Wuzziyeli mutabani wa Karuwaaya, ow'omu bafukusi ba zaabu n'addaabirizaawo; awamuddirira Ananiya omutabuzi w'obuwoowo n'addaabirizaawo. Ne bagumya Yeruzaalemu okutuuka ku Bbugwe Omugazi.
9
Awamuddirira Refaaya mutabani wa Kuru, omwami w'eggombolola y'ekyokubiri kya Yeruzaalemu n'addaabirizaawo.
10
Awamuddirira Yedaaya mutabani wa Karumafu n'addaabirizaawo, kye kitundu ekyali kitunudde mu nnyumba ye; awamuddirira Kattusi mutabani wa Kasabuneeya n'addaabirizaawo.
11
Malukiya mutabani wa Karimu ne Kassubi mutabani wa Pakati-Mowabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala n'Omunaala gw'Obubiga.
12
Awabaddirira Sallumu mutabani wa Kallokesi omwami w'eggombolola y'ekyokubiri kya Yeruzaalemu, ne bawala be, ne baddaabirizaawo.
13
Kanuni n'ab'e Zanowa baddaabiriza Omulyango gw'Ekiwonvu; baaguzimba ne bawangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo, ne baddaabiriza n'emikono lukumi egya bbugwe okutuuka ku Mulyango gw'Olubungo.
14
Malukiya mutabani wa Rekabu, omwami ow'eggombolola y'e Beti-Kakkeremu yazimba Omulyango gw'Olubungo, n'awangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo.
15
Sallumu mutabani wa Koli-Koze, omwami w'eggombolola y'e Mizupa n'addaabiriza Omulyango gw'Oluzzi; yaguzimba n'agusereka, n'awangamu enzigi, ppata n'emiyingo gyagwo. Era yaddaabiriza n'ekisenge ky'Ekidiba kya Sela, okumpi n'ennimiro ya kabaka n'okutuukira ddala ku madaala, agaserengeta ng'ova mu Kibuga kya Dawudi.
16
Awamuddirira Nekemiya mutabani wa Azubuku, omwami w'eggombolola y'ekyokubiri ky'e Beti-Zuru yaddaabirizaawo okutuuka mu maaso g'Amasiro ga Dawudi, n'okutuuka ku kidiba ekisime, ne ku nnyumba y'Abazira.
17
Awamuddirira, Abaleevi, nga bakulemberwa Rekumu mutabani wa Bani, baddaabirizaawo. Awabaddirira Kasabiya, omwami w'eggombolola y'ekyokubiri kya Keyila, yaddaabirizaawo ku lw'eggombolola ye.
18
Awamuddirira, bannansi bannaabwe nga bakulemberwa Bavvayi mutabani wa Kenadadi, omwami w'eggombolola y'ekyokubiri kya Keyila, baddaabirizaawo.
19
Awabaddirira Ezeri mutabani wa Yeswa afuga Mizupa yaddaabirizaawo, kye kitundu ekirala okuva mu maaso g'awambukirwa ku tterekero ly'ebyokulwanyisa okutuuka ku Nsonda.
20
Awamuddirira Baruku mutabani wa Zabbayi yaddaabirizaawo n'obunyiikivu; kye kitundu ekirala okuva ku Nsonda okutuuka ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu kabona omukulu.
21
Awamuddirira, Meremoti mutabani wa Wuriya mutabani wa Akkozi yaddaabirizaawo; kye kitundu ekyokubiri okuva ku mulyango gw'ennyumba ya Eliyasibu okutuuka ku nnyumba ya Eliyasibu w'ekoma.
22
Awamuddirira, bakabona ab'omu miseetwe baddaabirizaawo.
23
Awabaddirira, Benyamiini ne Kassubi baddaabiriza ekitundu ekitunudde mu nnyumba yaabwe; awabaddirira, Azariya mutabani wa Maaseeya, mutabani wa Ananiya, yaddaabiriza okumpi n'ennyumba ye.
24
Awamuddirira, Binnuyi mutabani wa Kenadadi yaddaabiriza ekitundu ekirala, okuva ku nnyumba ya Azariya okutuuka ku nsonda ne ku ntabiro.
25
Awamuddirira, Palali mutabani wa Wuzzayi yakola awatunudde mu nsonda ne mu Munaala ogusoolooba ku Lubiri olw'Engulu oluliraanye oluggya lw'Abakuumi. Awamuddirira, Padaaya mutabani wa Parosi
26
n'abaweereza b'omu Kiggwa abaasulanga ku kasozi Ofeli baddaabirizaawo okutuuka awatunudde ku Mulyango gw'Amazzi okwolekera ebuvanjuba n'Omunaala ogusooloobye.
27
Awabaddirira, ab'e Tekowa baddaabiriza ekitundu ekirala, okuva ku Munaala ogusooloobye okutuuka ku Kisenge kya Ofeli.
28
Bakabona baddaabiriza waggulu w'Omulyango gw'Embalaasi, buli omu ng'addaabiriza mu maaso g'ennyumba ye.
29
Awabaddirira, Zadoki mutabani wa Yimmeri yaddaabiriza mu maaso g'ennyumba ye; awamuddirira Semaaya mutabani wa Sekaniya, omuggazi w'Omulyango gw'Ebuvanjuba yaddaabirizaawo.
30
Awamuddirira, Ananiya mutabani wa Selemiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu owoomukaga baddaabiriza ekitundu ekirala. Awabaddirira, Mesullamu mutabani wa Berekiya yaddaabiriza mu maaso g'omuzigo gwe.
31
Awamuddirira, Malukiya, ow'omu bafukusi ba zaabu, yaddaabiriza okutuuka ku nnyumba y'abaweereza b'omu Kiggwa n'ey'abasuubuzi mu maaso g'Omulyango gw'Abakebezi okutuuka ku kisenge ekya waggulu eky'Ensonda.
32
Abasuubuzi n'abafukusi ba zaabu baddaabiriza wakati w'ekisenge ekya waggulu eky'Ensonda n'Omulyango gw'Endiga.
33
Sanuballati bwe yawulira nti tuzimba bbugwe, n'asunguwala, n'atwaka nnyo, n'avuma Abayudaaya.
34
N'ayogera mu maaso ga banne n'abakungu b'e Samariya nti: “Abayudaaya bano abayengetufu bakola ki? Banazzaawo bbugwe? Balitambira ebitambiro? Banaamala mu lunaku lumu? Balisobola okuzza obulamu mu mayinja okuva mu ntuumu y'amafunfugu, ago agaafuuka ebisiriiza?”
35
Ne Tobiya ow'e Ammoni, eyamuli ku lusegere, n'ayongereza okwo nti: “Singa ekyo kye bazimba ekibe kimala kikirinnyako, kimenya n'ekisenge kyabwe eky'amayinja.”
36
Ayi Katonda waffe, wulira, kubanga tujoogebwa! Ebivumo byabwe gira bibaddire ku mitwe gyabwe; baleke bafuuke munyago mu nsi y'obusibe.
37
Ekibi kyabwe tokibikkako; ekibi kyabwe tokisangula mu maaso go, kubanga bavumye abazimba.
38
Bwe tutyo ne twongera okuzimba bbugwe, era mangu n'atuuka mu makkati, kubanga abantu baakola n'omutima gwabwe gwonna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13