bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 13
Nehemiah 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Ku lunaku Ekitabo kya Musa lwe kyasomerwa abantu, baazuula nga kyawandiikibwa mu kitabo ekyo nti: “Tewabanga Mwammoni oba Mumowabu ayingiranga omulundi n'ogumu mu lukuŋŋaana lwa Katonda,
2
kubanga tebajja kusisinkana Bayisirayeli na migaati Na mazzi, era baagula Balaamu abavumirire, kyokka Katonda waffe ebikolimo n'abifuula mukisa.”
3
Bwe baawulira Etteeka, ne baawula mu Yisirayeli bonna ab'endyo engwira.
4
Kyokka mu kusooka, Eliyasibu kabona, ye yali akulira amaterekero g'Ekiggwa kya Katonda waffe, nga wa luganda lwa kumpi ne Tobiya;
5
yali amukoledde etterekero eddene, mu kusooka omwaterekebwanga ebitone eby'obuwunga, obubaani, ebikozesebwa ebirala, n'ekyekkumi eky'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo ebyabanga omugabo gw'Abaleevi, abayimbi n'abaggazi, n'ebyatonerwanga bakabona.
6
Bino byonna okubeerawo, nze nali siri mu Yeruzaalemu, kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Arutakesasuta kabaka w'e Babiloni, nagenda ewa kabaka. Nga wayise ennaku, ne nsaba nve ewa kabaka,
7
ne nkomawo mu Yeruzaalemu. Wano we namanyira ekibi Eliyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu kigango ky'Ekiggwa kya Katonda.
8
Kino tekyansanyusiza ddala, kwe kuddira ebintu bya Tobiya byonna ne mbikasuka ebweru okuva mu kisenge.
9
Nalagira ekisenge bakirongoose, olwo ne nzizaamu ebikozesebwa mu Kiggwa kya Katonda, ebitone eby'obuwunga n'obubaani eby'okuweereza.
10
Ne mmanya nti emigabo gy'Abaleevi tegyaleetebwa, nga n'Abaleevi n'abayimbi abaali baweereza buli omu yali yeddiddeyo ku butaka bwe.
11
Nanenya abakulembeze, ne mbabuuza nti: “Lwaki Ekiggwa kya Katonda kyagayaalirirwa?” Ne mbakuŋŋaanyaayo ne mbassa mu bifo byabwe.
12
Yuda yenna n'aleeta ekyekkumi eky'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo mu materekero.
13
Ne nzisa Selemiya kabona, Zadoki omuwandiisi n'Omuleevi omu Pedaaya ku kulabirira amaterekero, ne nnonda Kanani mutabani wa Zakkuri, mutabani wa Mattaniya abayambeko, kubanga baalabika nga beesigwa. Ne bakwasibwa ogw'okugabiranga baganda baabwe.
14
Ayi Katonda wange, nzijukira olw'okubeera kino; tosangulawo bya kisa bye nakolera Ekiggwa kya Katonda wange n'okuweereza kwamu.
15
Mu nnaku ezo nalaba abasajja mu Yuda abasogola ku Sabbaato, n'abasomba eŋŋano nga batikka ku ndogoyi, era n'evviini, ebirimba by'emizabbibu, entontogolo z'emikunyu n'entwala yonna, ne babireeta mu Yeruzaalemu ku Sabbaato. Nabalabula obutatundanga mmere ku olwo.
16
Abasajja okuva e Tiiro abaasulanga mu Yeruzaalemu, baaleetanga ebyennyanja n'ebyamaguzi ebya buli kika ne babiguza abantu ba Yuda ku Sabbaato mu Yeruzaalemu.
17
Ne nnenya abakungu ab'omu Yuda, ne mbagamba nti: “Kiki kino kye mukola okwonoona muti Sabbaato?
18
Bino bajjajjammwe si bye baakola, Katonda waffe n'alyoka atuleetera akabi kano konna, ne ku kibuga kino? Ate mmwe mwongera kusiikuulira Yisirayeli busungu nga mwonoona Sabbaato?”
19
Obudde bwe bwakwatanga enzikiza ku miryango gya Yeruzaalemu nga Sabbaato tennaluma, nga ndagira nga baggalawo enzigi, era nga mbalagira baleme kuggulawo okutuusa nga Sabbaato emaze okuyita. Abamu ku basajja bange nabassa ku miryango, wabulewo omugugu oguleetebwamu ku Sabbaato.
20
Omulundi gumu oba ebiri abasuubuzi n'abatunzi baasula bweru wa Yeruzaalemu n'eby'amaguzi byabwe byonna.
21
Ne mbalabula, ne mbagamba nti: “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola, nzija kubakolako.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Sabbaato.
22
Awo ne ŋŋamba Abaleevi beetukuze, bagende bakuume emiryango, Sabbaato ekuumibwe nga ntukuvu. N'olwa kino, ayi Katonda wange, nzijukira, onsaasire ng'oggya ku kisa kyo ekingi.
23
Era mu nnaku ezo nalaba Abayudaaya abaali bawasizza abakazi ab'omu Asudodi, Ammoni ne Mowabu.
24
Kyakubiri eky'abaana baabwe baali boogera lulimi lwa Asudodi, oba olulimi lw'abantu bano oba bali, nga tebamanyi kwogera Luyudaaya.
25
Ne mbanenya, ne mbavumirira. Abamu mu bo ne mbakuba, ne mbakuunyuulako enviiri, ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nti: “Temufumbizanga bawala bammwe batabani baabwe, yadde okuwasiza batabani bammwe bawala baabwe, oba mmwe okubawasa.
26
Si bya ngeri eno ebyaleetera Solomoni kabaka wa Yisirayeli okwonoona? Mazima, mu mawanga mangi tewabanga kabaka amufaanana; yayagalibwa Katonda we, Katonda n'amuteekawo afuge Yisirayeli yenna; naye ye mwene abakazi abagwira baamuleetera okugwa mu kibi.
27
Mwagala tuwulirize mmwe, tugwe mu nsobi ennene eyo yonna, twonoone eri Katonda waffe nga tuwasa abakazi abagwira?”
28
Omu mu baana ba Yoyada, mutabani wa Eliyasibu kabona omukulu, yali mukoddomi wa Sanuballati Omukoroni; namugoba w'endi.
29
Ayi Katonda wange, bajjukirenga bano olw'okujaajaamya obwakabona n'endagaano ey'obwakabona n'Obuleevi.
30
Nabatukuzaako buli kigwira kyonna, ne nzizaawo buto ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli omu mu mulimu gwe,
31
ne ntereeza endeeta y'enku mu kiseera we ziteekwa okuleeterwa, era bwe ntyo ne ku bibala ebisooka. Nzijukira, ayi Katonda wange, olw'obulungi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13