bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 8
Nehemiah 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu mbuga eri mu maaso g'Omulyango gw'Amazzi, ne bagamba Ezira omuwandiisi aleete ekitabo ky'Etteeka lya Musa, Omukama lye yali ateekedde Yisirayeli.
2
Ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwomusanvu Ezira kabona n'aleeta Etteeka mu maaso g'ekibiina omwali abasajja, abakazi n'abalala bonna abaali basobola okutegeera.
3
N'akisomamu awo mu luggya olutunudde mu Mulyango gw'Amazzi, okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, mu maaso g'abasajja, abakazi, n'abo abaali basobola okutegeera; abantu bonna ne bawuliriza bulungi ekitabo ky'Etteeka.
4
Ezira omuwandiisi n'ayimirira ku kadaala ak'emiti ke baali bakoledde omukolo. Ku ddyo we waali wayimiriddewo Mattitiya, Sema, Anaaya, Wuriya, Kilukiya ne Maaseeya, ate ku gwa kkono ng'eriyo Pedaaya, Misayeli, Malukiya, Kasumi, Kasubaddana, Zakariya ne Mesullamu.
5
Ezira n'abikkula ekitabo abantu bonna nga bamulaba bulungi, anti yali asooloobye ku bantu bonna; bwe yakibikkula, abantu bonna ne bayimirira.
6
Ezira n'agulumiza Omukama Katonda omukulu; abantu bonna ne baanukula nti: “Amiina, amiina,” nga basitulira waggulu emikono gyabwe. Ne bavunnama, ne basinza Katonda amaaso gaabwe nga gatuuse ku ttaka.
7
Bo Abaleevi: Yeswa, Bani, Serebiya, Yamini Akkubu, Sabbetayi, Odiya, Maaseeya, Kelita, Azariya, Yozabadi, Kanani ne Pelaaya baali bannyonnyola abantu Etteeka; bo abantu baali bayimiridde mu bifo byabwe.
8
Ne basoma mu kitabo ky'Etteeka lya Katonda nga bwe bakyusa n'okunnyonnyola amakulu abantu basobole okutegeera ebisomebwa.
9
Nekemiya owessaza, Ezira kabona era omuwandiisi n'Abaleevi abaali bayigiriza abantu ne bagamba abantu bonna nti: “Olunaku luno lutukuvu ku lw'Omukama Katonda waffe. Muleke kunakuwala yadde okukaaba.” Anti abantu bonna baali mu maziga nga bawuliriza ebigambo by'Etteeka.
10
N'abagamba nti: “Mugende, mulye ebyassava munywe otwenge otuwooma, mugabireko ne ku abo abatalina kye beetegekeddewo, kubanga lunaku lutukuvu ku lwa Mukama waffe. Muleke kunakuwala, anti essanyu ly'Omukama ge maanyi gammwe.”
11
Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga bagamba nti: “Mwenna mwesirikire, kubanga luno lunaku lutukuvu, muleke kunakuwala.”
12
Abantu bonna ne bagenda okulya n'okunywa n'okugabako ku mmere, ne basanyuka ebitatendeka, kubanga baali bategedde ebigambo bye baali babategeezezza.
13
Ate ku lunaku olwokubiri abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abantu bonna, bakabona n'Abaleevi ne bakuŋŋaanira awali Ezira omuwandiisi beetegereze ebigambo by'Etteeka.
14
Ne bazuula nga kyawandiikibwa mu Tteeka Omukama lye yateeka ng'ayita mu Musa nti: “Abayisirayeli ba kusulanga mu nsiisira mu mbaga ey'omwezi ogwomusanvu,
15
era nga ba kulangiriranga n'okumanyisa wonna mu bibuga byabwe byonna ne mu Yeruzaalemu nti: ‘Mufulume, mugende mu nsozi muleete amatabi g'oliva ensimbe n'ez'ettale, aga jjambula, ag'enkindu, n'ag'emiti egiggumizza, muzimbe ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.’ ”
16
Abantu ne bafuluma ne baleeta amatabi, ne beekolera ensiisira, buli omu ku kasolya ke, mu mpya zaabwe, mu luggya lw'Ekiggwa kya Katonda, ne mu mbuga y'Omulyango gw'Amazzi ne mu mbuga y'Omulyango gwa Efurayimu.
17
Ekibiina kyonna eky'abaava mu buwaŋŋanguse baakola ensiisira ne basula omwo. Anti Abayisirayeli ekyo baali tebakikolanga okuva mu budde bwa Yoswa mutabani wa Nuunu okutuusa ku olwo; essanyu lyali lingi nnyo.
18
Ezira yasomanga mu kitabo ky'Etteeka lya Katonda buli lunaku okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olusembayo. Embaga baamala ennaku musanvu nga bagikuza, ate ku lwomunaana ne wabaawo olukuŋŋaana olw'ekitiibwa ng'etteeka bwe ligamba.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13