bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 4
Nehemiah 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
Sanuballati, Tobiya, Abawarabu, Abammoni n'ab'e Asudodi bwe baawulira ng'okuddaabiriza bbugwe wa Yeruzaalemu kugenda mu maaso, ng'amabanga gagenda gazibwa, ne basunguwala nnyo.
2
Bonna ne beekoba bajje balwanyise Yeruzaalemu, bakireetemu okutabukatabuka.
3
Ne tusaba ewa Katonda waffe, ne tussaawo omukuumi emisana n'ekiro okubeekuuma.
4
Ate bo abantu ba Yuda baalinga bagamba nti: “Omwetissi amaanyi gamuwedde; amafunfugu mangi; tetujja kusobola kuzimba bbugwe.”
5
N'abalabe baffe ne bagamba nti: “Baliba tebannamanya na kutulaba, ffe nga tubaguddemu, nga tubatta, omulimu nga tugukomya awo.”
6
Abayudaaya abaali basula okumpi nabo ne bajja batugamba emirundi kkumi miramba nti: “Bajja kuva mu bifo wonna gye babeera batulumbe.”
7
Nze kwe kuteeka abasajja abamu wansi ku bbugwe mu bifo ebyereere, nga mbatereezezza mu ndyo zaabwe, nga balina ebitala byabwe, amafumu gaabwe n'obusaale bwabwe.
8
Bwe nekkaanya, ne nsituka, ne ŋŋamba abakungu, abalamuzi n'abantu abalala bonna nti: “Muleke kubatya. Mujjukire Omukama omukulu, ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe, batabani bammwe, bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.”
9
Abalabe baffe ne bamanya nga tutegeezeddwako, ne Katonda ng'agootaanyizza entegeka zaabwe, ffe ne tudda ku kigo, buli omu ku mulimu gwe.
10
Okuva ku olwo, ekitundu ekyokubiri eky'abakozi bange ne basigala ku mulimu, ate ekyokubiri ekirala nga bakutte amafumu, engabo, obusaale n'ebizibawo. Abakulembeze bonna ne baba mabega w'abantu bonna aba Yuda
11
abaali bazimba ekigo. Abaakolanga ogw'obwetissi omulimu baagukozesanga omukono ogumu, omulala nga gukutte ekyokulwanyisa.
12
Abazimbi nabo baazimbanga buli omu ng'alina ekitala ku lukugunyu. Kyokka ye eyafuuwanga eŋŋombe yasigalanga we ndi.
13
Ne ŋŋamba abakungu, abalamuzi n'abantu abalala bonna nti: “Omulimu munene ate mugazi, ku bbugwe buli omu asuulaganye ne munne;
14
ekifo we munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, mwenna mudduke mulage eyo. Katonda waffe ajja kutulwanirira.”
15
Ne twongera bwe tutyo omulimu mu maaso; ekyokubiri kyaffe nga bakutte amafumu okuva ku mmambya ng'asala okutuusa emmunyeenye okuvaayo.
16
Mu budde obwo nagamba abantu nti: “Buli omu asule n'omuweereza we mu Yeruzaalemu; ekiro batukolere ogw'okukuuma, emisana bakole.”
17
Nze, baganda bange, basajja bange n'abakuumi bange nga tetweyambula; buli omu ng'abeera n'ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13