bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nehemiah 7
Nehemiah 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Bbugwe bwe yamala okuzimbibwa, ne mpangamu enzigi, ne nnonda abaggazi, abayimbi n'Abaleevi,
2
Kanani muganda wange gwe nassaamu alabirire Yeruzaalemu wamu ne Ananiya omugabe alabirira ekigo, kubanga yali musajja mwesimbu, ng'atya Katonda okusinga abantu abalala bonna.
3
Nabagamba nti: “Emiryango gya Yeruzaalemu tegiggulwanga okutuusa ng'akasana kamaze okukaalaama, ate giggalwe n'okusibibwa ng'enjuba etandika okugwa. Mulonde mu batuuze b'omu Yeruzaalemu abakuumi, abamu mubasse we banaakuuma, abalala bakuumire mu maaso g'ennyumba zaabwe.”
4
Ekibuga kyali kigazi nga kinene, naye nga mulimu abantu batono, n'ennyumba nga sizinnazimbibwa.
5
Katonda n'ateeka mu mutima gwange eky'okukuŋŋaanya abakungu, abakulembeze n'abantu aba bulijjo, mbabale nga ngoba endyo zaabwe. Nagwikiriza ekitabo ky'endyo zaabo abaasooka okudda. Bano be nasanga bawandiikiddwamu:
6
“Bano be bantu ab'omu ttwale abaayambuka nga bava mu busibe bw'abawaŋŋangusibwa, Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni be yali atutte mu busibe mu Babiloni, ne bakomawo mu Yeruzaalemu ne mu Yuda, buli omu n'adda mu kibuga kye;
7
bajja ne Zerubabbeli, Yeswa, Nekemiya, Azariya, Raamiya, Nakamani, Morudekayi, Bilusani, Misupereti, Biguvayi, Nekumu ne Baana. “Omuwendo gw'abasajja b'eggwanga lya Yisirayeli:
8
abaana ba Parosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri;
9
batabani ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri;
10
bazzukulu ba Ara, lukaaga mu ataano mu babiri;
11
bazzukulu ba Pakati-Mowabu, be bazzukulu ba Yeswa ne Yowabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na munaana;
12
bazzukulu ba Elamu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana;
13
bazzukulu ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano;
14
bazzukulu ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga;
15
bazzukulu ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana;
16
bazzukulu ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana;
17
bazzukulu ba Azugadi, enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri;
18
bazzukulu ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu;
19
bazzukulu ba Biguvayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu;
20
bazzukulu ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano;
21
bazzukulu ba Ateri, abasibuka mu Kezekiya, kyenda mu munaana;
22
bazzukulu ba Kasumi, bisatu mu abiri mu munaana;
23
bazzukulu ba Bezayi, bisatu mu abiri mu bana;
24
bazzukulu ba Karifu, kikumi mu kkumi na babiri;
25
bazzukulu ba Gibewoni, kyenda mu bataano;
26
abasajja b'e Beteleemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana;
27
abasajja b'e Anatoti, kikumi mu abiri mu munaana;
28
abasajja b'e Beti-Azumaveti, amakumi ana mu babiri;
29
abasajja b'e Kiriyati-Yewarimu, Kafira ne Beeroti, lusanvu mu ana mu basatu;
30
abasajja b'e Rama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu;
31
abasajja b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri;
32
abasajja b'e Beteli ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu;
33
abasajja b'e Nebo ekirala, amakumi ataano mu babiri;
34
abasajja b'e Elamu ekirala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana;
35
bazzukulu ba Karimu, bikumi bisatu mu abiri;
36
abasajja b'e Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano;
37
abasajja b'e Lodi, Kadidi ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu;
38
bazzukulu ba Sena, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu.
39
“Bakabona: bazzukulu ba Yedaaya, okuva mu nnyumba ya Yeswa, lwenda mu nsanvu mu basatu:
40
bazzukulu ba Yimmeri, lukumi mu ataano mu babiri;
41
bazzukulu ba Pasukuru, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu;
42
bazzukulu ba Karimu, lukumi mu kkumi na musanvu.
43
“Abaleevi: bazzukulu ba Yeswa ne Kadumiyeli, ab'omu nnyumba ya Odaviya, nsanvu mu bana.
44
Abayimbi: bazzukulu ba Asafu, kikumi mu ana mu munaana.
45
“Abaggazi: bazzukulu ba Sallumu, Ateri, Talumoni, Akkubu, Katita ne Sobayi, bonna wamu kikumi mu asatu mu munaana.
46
“Abaweereza b'omu Kiggwa: bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoti,
47
bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni,
48
bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Salumayi,
49
bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Giddeli, bazzukulu ba Gakari,
50
bazzukulu ba Reyaaya, bazzukulu ba Rezini, bazzukulu ba Nekoda,
51
bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Wuzza, bazzukulu ba Pasewa,
52
bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Mewunimu, bazzukulu ba Nefussimu,
53
bazzukulu ba Bakubuku, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Karukuri,
54
bazzukulu ba Bazuluti, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Karusa,
55
bazzukulu ba Barukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Temaki,
56
bazzukulu ba Neziya, bazzukulu ba Katifa.
57
“Bazzukulu b'abaweereza ba Solomoni: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Sofereti, bazzukulu ba Peruda,
58
bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Darukoni, bazzukulu ba Giddeli,
59
bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattili, bazzukulu ba Pokereti-Kazzebayimu, bazzukulu ba Amoni.
60
“Abaweereza b'omu Kiggwa ne bazzukulu b'abaweereza ba Solomoni, bonna nga bawera ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
61
“Bano be badda nga bava mu bibuga Teli-Melaki, Teli-Karusa, Kerubi, Addoni ne Yimmeri, naye nga tebasobola kutegeeza oba ennyumba ya bajjajjaabwe n'olulyo nga bya mu Yisirayeli:
62
bazzukulu ba Delaaya, bazzukulu ba Tobiya, bazzukulu ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri.
63
Ate mu ba bakabona: bazzukulu ba Kobaaya, bazzukulu ba Akkozi, bazzukulu ba Baruzillayi, eyawasa mu bawala ba Baruzillayi Omugileyaadi n'ayitibwa erinnya eryo.
64
Bano baanoonya obuwandiike bw'olulyo lwabwe ne batabuzuula, ne bagobebwa mu bakabona olw'obutaba balongoofu.
65
Owessaza n'abagaana okulyanga ku bintu ebitukuvu ennyo, okutuusa nga wazzeewo kabona aweereza ne Wurimu ne Tummimu.
66
“Ekibiina kyonna baawera abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga,
67
ng'oggyeeko abaddu n'abazaana kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu; ssaako abayimbi abasajja n'abakazi ebikumi bibiri mu ana mu bataano.
68
Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga, ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano,
69
eŋŋamiya ebikumi bina mu asatu mu ttaano, n'endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri.
70
“Abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe abamu balina kye baawaayo ku mulimu. Owessaza yawa mu ggwanika durakuma lukumi eza zaabu, ebikompe amakumi ataano n'ekkanzu za bakabona ebikumi bitaano mu asatu.
71
Ate abantu abalala bonna ne bawa durakuma emitwalo ebiri eza zaabu, mina enkumi bbiri eza ffeeza n'ekkanzu za bakabona nkaaga mu musanvu.”
72
Bakabona n'Abaleevi wamu n'abantu abamu, abayimbi, abaggazi, abaweereza b'omu Kiggwa, n'Abayisirayeli abalala bonna baasenga mu bibuga byabwe. Omwezi ogwomusanvu okutuuka, nga Abayisirayeli bamaze okusenga mu bibuga byabwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13