bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 1
Zechariah 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
1
Mu mwezi ogwomunaana, mu mwaka ogwokubiri ogwa Dariyo, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Zakariya omulanzi mutabani wa Berekiya, mutabani wa Yiddo, nga kigamba nti:
2
“Omukama asunguwalidde bajjajjammwe.
3
Bagambe nti: ‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mudde gye ndi, Omukama w'Amagye y'agamba, nange nzija kudda gye muli, Omukama w'Amagye y'agamba.
4
Muleme kubeera nga bajjajjammwe, abalanzi abaakulembera be baagambanga nti: “Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Muve ku bibi byammwe n'ebirowoozo byammwe ebibi,” naye bo ne batawulira, ne batategereza, Omukama y'agamba.
5
Kati bajjajjammwe bali ludda wa? Bo abalanzi babeerawo emirembe gyonna?
6
Ddala ddala ebigambo byange n'amateeka gange bye nalagira abaweereza bange abalanzi tebyatuukirira ku bajjajjammwe? Beenenya ne bagamba nti: “Omukama w'Amagye atukoze nga bwe yateesa okutukola nga bwe kyali kitugwanidde ng'agerera ku makubo gaffe n'endowooza yaffe.” ’ ”
7
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, nga gwe mwezi ogwa Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogwa Dariyo, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Zakariya mutabani wa Berekiya, mutabani wa Yiddo, nga kigamba nti:
8
“Mu kiro nalabikirwa: omusajja yali atudde ku mbalaasi emmyufu. Yali ayimiridde mu miti gya jjambula mu luwonko, emabega we ng'eriyo embalaasi emmyufu, eya kikuusi n'enjeru.
9
Ne mbuuza nti: ‘Mukama, bano baki?’ Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti: ‘Nzija kukulaga kye bali.’
10
Omusajja eyali ayimiridde mu miti gya jjambula n'agamba nti: ‘Bano be baabo Omukama b'atumye okuyitaayita mu nsi.’
11
Ne baanukula malayika w'Omukama eyali ayimiridde mu miti gya jjambula, ne bamugamba nti: ‘Tuyiseeyise mu nsi, ensi yonna etebenkedde, eri mu ddembe.’
12
Malayika w'Omukama n'ayanukula nti: ‘Ayi Mukama w'Amagye, onootuusa wa obutasaasira Yeruzaalemu n'ebibuga bya Yuda, bye wasunguwalira kati gino emyaka nsanvu?’
13
Omukama n'addamu n'ebigambo ebirungi ebikubagiza malayika eyali ayogera nange.
14
Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti ‘Langirira nti: “Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Yeruzaalemu ne Siyoni bankwasa nnyo ensaalwa,
15
naye nnyiigidde nnyo amawanga ageetuulidde entende; nali nsunguwaddemu katono naye bo akabi ne bakabiggyisa.”
16
“ ‘N'olw'ekyo Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nzija kudda eri Yeruzaalemu mmusaasire, n'eyo Ekiggwa kyange gye kinaazimbibwa, Omukama w'Amagye y'agamba, n'olukoba olupima lulikubibwa ku Yeruzaalemu.’
17
Era langirira nti: ‘Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Ebibuga binaddamu ne bibooga ebirungi, n'Omukama ajja kukubagiza Siyoni, alonde Yeruzaalemu.’ ”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14