bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 4
Zechariah 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
1
Awo malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa ng'omuntu bw'azuukusibwa mu tulo.
2
N'ambuuza nti: “Olaba ki?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba ekikondo ky'ettawaaza, kyonna nga kya zaabu, waggulu ku kyo nga kuliko ekibya, n'ettawaaza zaakyo omusanvu nga ziri kuli, n'emikonda musanvu ku ttawaaza eziri ku mutwe gw'ekikondo.
3
Era waliwo kumpi nakyo emiti gy'oliva ebiri, ogumu ku ddyo w'ekibya n'omulala ku kkono.”
4
Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Ssebo, bino biki?”
5
Malayika eyali ayogera nange n'annyanukula nti: “Bino tobimanyi?” Ne mugamba nti: “Nedda, mukama wange.”
6
Awo n'aŋŋamba nti: “Kino kye kigambo ky'Omukama eri Zerubabbeli, si na maanyi, si na buyinza, wabula na Mwoyo wange.”
7
“Ggwe ani, ggwe olusozi olunene? Mu maaso ga Zerubabbeli ojja kufuuka museetwe. Aliggyayo ejjinja ery'oku ntikko eno nga bayogaana nti: ‘Aliwe omukisa, aliwe omukisa!’ ”
8
Ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
9
“Emikono gya Zerubabbeli gibanze omusingi gw'Ekiggwa kino, era emikono gye gye girikimaliriza. Olwo mulimanya nti Omukama w'Amagye ye yantuma gye muli.
10
Ani anyooma olunaku olw'ekintu ekitono? Abantu balisanyuka, bwe baliraba bbirigi ey'essasi mu ngalo za Zerubabbeli. Amaaso ago omusanvu, ge maaso g'Omukama agayitaayita mu nsi wonna.”
11
Ne mbuuza malayika nti: “Emiti gy'oliva gino ebiri egiri ku ddyo ne ku kkono w'ekikondo ky'ettawaaza gyaki?”
12
Ne mmubuuza ogwokubiri nti: “Amatabi gano abiri ag'oliva gaaki agaliraanye emidumu ebiri egya zaabu omuyita omuzigo?”
13
N'addamu nti: “Egyo togimanyi?” Ne ŋŋamba nti: “Nedda, mukama wange.”
14
Kwe kuŋŋamba nti: “Abo be basiige ababiri abaliwo okuweereza Omukama w'ensi yonna.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14