bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 11
Zechariah 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
1
Lebanoni, ggulawo emiryango gyo, omuliro gulye entolookyo zo.
2
Mukube ebiwoobe, mmwe sipulaasi, kubanga entolookyo egudde; kubanga emiti egy'ekitiibwa ginyaguluddwa; mukube ebiwoobe, mmwe emivule gy'e Basani, kubanga ekibira ekikwafu kigudde.
3
Wulira okuwoloma kw'abalunzi, kubanga ekitiibwa kyabwe kyonna kivunjagiddwa. Wulira okuwuluguma kw'empologoma, kubanga embirabira za Yorudani zizikiriziddwa.
4
Omukama Katonda wange kino ky'agamba: “Mulunde endiga ez'okutta.
5
Abo abazigula bazitta ne batazza musango, n'abazitunda beegambira nti: ‘Omukama agulumizibwe, ngaggawadde!’ N'abasumba baazo bennyini tebazisaasira.
6
Nze sijja kuddamu kusaasira bantu ba mu nsi muno, Omukama y'agamba. Abantu nzija kubawaayo, buli omu mu mikono gya munne, ne mu gya kabaka we. Balinyigiriza ensi, naye sigenda kubawonyaawo mu mikono gya bali.”
7
Bwe ntyo ne nnunda endiga ez'okutta ez'abasuubuzi ba kabaka. Ne nzirira emiggo ebiri, ogumu ne ngutuuma 'Kisa' n'omulala ne ngutuuma Mukago, ne nnunda endiga.
8
Mu mwezi gumu ne nzigyawo abasumba abasatu. Endiga zanneenyiwa nange ne nzeetamwa.
9
Ne ŋŋamba nti: “Sijja kubalunda mmwe; ez'okufa ka zife, n'ez'okuzikirira ka zizikirire, ate ezisigadde buli emu erye ennyama ya ginnaayo.”
10
Awo ne nzirira omuggo gwange oguyitibwa 'Kisa' ne ngumenyamu, bwe ntyo endagaano yange ne ngimenyawo gye nali nkubye n'amawanga gonna.
11
N'emenyebwawo ku olwo; abasuubuzi b'endiga abaali bantunuulidde ne bamanya nti ekyo kigambo kya Mukama.
12
Ne mbagamba nti: “Oba mulaba nti kirungi, munsasule empeera yange, oba si ky'ekyo, mwerekere.” Ne bampimira empeera yange: ebitundu bya ffeeza amakumi asatu
13
Omukama n'aŋŋamba nti: “Bikasukire omubumbi” omuwendo ogw'ettendo bo gwe bannamulamu. Ne nkwata ebitundu bya ffeeza amakumi asatu ne mbikasukira omubumbi mu nnyumba y'Omukama.
14
Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri oguyitibwa 'Mukago', ne mmenyawo bwe ntyo oluganda wakati wa Yuda ne Yisirayeli.
15
Omukama n'aŋŋamba nti: “Era ddira otwale ebikola eby'omusumba omubuyabuya,
16
kubanga ŋŋenda kussaawo omusumba mu nsi atalyefiirayo ku ndiga ezibuze oba okunoonya eziwabye, okuwonya ezifunye obuvune n'okuliisa ennamu, wabula alirya ennyama y'ensava, n'anuulako ebinuulo byazo.
17
“Zimusanze omulunzi omubuyabuya aleka awo eggana! Ekitala kikube omukono gwe n'eriiso lye erya ddyo! Omukono gwe gukalire ddala, n'eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14