bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 2
Zechariah 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
1
Ne nsitula amaaso, ne ndaba: awo waaliwo amayembe ana.
2
Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Bino biki?” N'aŋŋamba nti: “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda, Yisirayeli ne Yeruzaalemu.”
3
Ate Omukama n'andaga abaweesi bana.
4
Ne mbuuza nti: “Ate bano bazze kukola ki?” N'anziramu nti: “Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda, wabulewo mu bo ayimusa omutwe; bano bazze kubatiisa basuule eri amayembe g'amawanga agaayimusiriza ensi ya Yuda amayembe gaago ne gamusaasaanya.”
5
Ne nsitula amaaso gange ne ndaba: awo waaliwo omusajja ng'akutte mu ngalo ze olukoba olupima.
6
Ne mbuuza nti: “Ate ggwe ogenda wa?” N'aŋŋamba nti: “Kupima Yeruzaalemu ndabe obugazi bwakyo n'obuwanvu.”
7
Awo Malayika eyali ayogera nange n'afuluma, ate malayika omulala n'afuluma okumusisinkana,
8
n'amugamba nti: “Dduka, gamba omuvubuka oyo nti: ‘Yeruzaalemu kya kubeera kibuga okutali bbugwe olw'obungi bw'abantu abakirimu n'ebisolo ebikirimu.
9
Ate nze nnaababeerera bbugwe ow'omuliro okukyetooloola, Omukama w'Amagye y'agamba, nze nnaaba Ekitiibwa mu makkati gaakyo.’ ”
10
“Abange, abange! Mudduke okuva mu nsi y'emambuka, Omukama y'agamba, kubanga nabasaasaanya mu nsonda ennya ez'eggulu, Omukama y'agamba.
11
Owange Siyoni, dduka, ggwe asula ewa muwala wa Babiloni.
12
Kubanga Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Oluvannyuma lw'Ekitiibwa okuntuma, ne kinsindika mu mawanga agaabanyagulula, anti abakwatako aba amukutte mu mmunye:
13
Nzija kubagololerako omukono gwange bafuuke munyago gw'ababadde abaddu baabwe, olwo mulimanya nti Omukama w'Amagye y'antumye.
14
Yimba, jaganya, muwala wa Siyoni, kubanga nzuuno nzija, ate nzija kusula mu ggwe, Omukama y'agamba.
15
Amawanga mangi galyeyunga ku Mukama ku olwo ne babeera bantu be. Nzija kusula mu makkati go, olimanya nti Omukama w'Amagye y'antumye gy'oli.
16
Omukama alisikira Yuda nga gwe mugabo gwe mu nsi entukuvu, aliddamu n'alonda Yeruzaalemu.
17
Mwenna abantu, musirike awali Omukama, kubanga asituse ng'ava mu kisulo kye ekitukuvu.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14