bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 8
Zechariah 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
1
Ekigambo ky'Omukama w'Amagye kyanzijira nga kigamba nti:
2
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Siyoni ankwasa ensaalwa; mbabirirwa muli olw'okumusaalirwa.
3
Omukama kino ky'agamba: Nzija kukomawo mu Siyoni, wakati mu Yeruzaalemu. Olwo Yeruzaalemu kiriyitibwa Kibuga kya Mazima, n'olusozi lw'Omukama w'Amagye luliyitibwa Olusozi Olutukuvu.
4
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Abakadde abasajja n'abakazi baliddamu okutuula ku makubo mu Yeruzaalemu, buli omu ng'alina omuggo mu ngalo ze olw'obukadde bwe.
5
Amakubo mu kibuga galijjula abaana abalenzi n'abawala abazannyiramu.
6
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Kino kirabika ng'ekyewuunyo eri abaasigalawo mu bantu bano mu nnaku ezo, naye ne mu maaso gange bwe kirindabikira? Omukama w'Amagye y'agamba.
7
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nze nzija kuwonya abantu bange okuva mu nsi y'ebuvanjuba n'ey'ebugwanjuba.
8
Nzija kubaleeta era balisula mu Yeruzaalemu; balibeera bantu bange nange ndibeera Katonda waabwe omwesigwa era omutuukirivu gye bali.
9
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa k'abalanzi abaaliwo ku lunaku Ekiggwa ky'Omukama w'Amagye lwe ky'abangibwawo, emikono gyammwe gigume Ekiggwa kisobole okuzimbibwa.
10
Mu bbanga eryakulembera ennaku ezo tewaaliwo mpeera eri muntu oba ekisolo; omuntu yagendanga ku mirimu gye naye nga talina buweerero ku mulabe, kubanga buli muntu nali mukyawaganyizza ne munne.
11
Naye kati abaasigalawo mu bantu bano sijja kubayisa nga bwe nakola mu biseera ebiyise, Omukama w'Amagye y'agamba.
12
Ensigo erikula mu ddembe, omuzabbibu gulireeta ebibala byagwo n'ettaka liribaza ekibala kyalyo. Bino byonna ndibiwa abaasigalawo mu bantu bano bibeere byabwe.
13
Mmwe ennyumba ya Yuda n'ennyumba ya Yisirayeli, nga bwe mwali ekivumo mu mawanga, kale nno nzija kubawonya, mubeere omukisa. Muleke kutya, emikono gyammwe gigume.
14
“Kubanga Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nga bwe nali nteesezza okubakola akabi naye ne mbasaasira, luli bajjajjammwe lwe bannyiiza, y'agamba Omukama w'Amagye,
15
kale nno nteesezza mu nnaku zino, nkolere bulungi Yeruzaalemu n'ennyumba ya Yuda; muleke kutya.
16
Bino bye muba mukola: buli omu abuulire munne amazima, mu mbuga mulamule mu bwenkanya mwereetere emirembe;
17
temuteesa kukoleragana bubi mu mitima gyammwe, n'okulayira eby'obulimba temukyagalanga, kubanga ebyo byonna mbikyawa, Omukama y'agamba.”
18
Naye ekigambo ky'Omukama w'Amagye kyanzijira nti:
19
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Ekisiibo ky'omwezi ogwokuna, eky'ogwokutaano, eky'ogwomusanvu n'eky'ogw'ekkumi kirireetera ennyumba ya Yuda essanyu n'okusagambiza n'embaga ennungi; awo nno mwagale amazima n'eddembe.”
20
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Abantu bangi ko n'abasula mu bibuga ebinene balijja,
21
n'ab'omu kibuga ekimu baligenda mu kirala ne bagamba nti: ‘Tugende, tuwanjagire mu maaso g'Omukama, tunoonye Omukama w'Amagye; nze ŋŋenda.’
22
Abantu bangi balijja, n'amawanga ag'amaanyi galijja okunoonya Omukama w'Amagye mu Yeruzaalemu n'okuwanjagira Omukama.
23
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mu nnaku ezo, abantu kkumi okuva mu nnimi zonna n'amawanga balikwata omukugiro gw'omusajja Omuyudaaya ne bamugamba nti: ‘Tujja kugenda nammwe, kubanga twawulira nti Katonda ali nammwe.’ ”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14