bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 6
Zechariah 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
1
Ne nnyimusa amaaso gange nate, ne ndaba: awo waaliwo ebigaali bina nga bifuluma biva wakati w'ensozi bbiri, ensozi nno nga za kikomo!
2
Ekigaali ekisooka kyalina embalaasi mmyufu, ez'ekigaali ekyokubiri nga nzirugavu,
3
ez'ekyokusatu nga njeru, n'ez'ekigaali ekyokuna nga za magondogondo; zonna nga za maanyi.
4
Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Mukama wange, bino biki?”
5
Malayika n'ayanukula nti: “Ezo ze mpewo ennya ez'eggulu ezifuluma, nga zimaze okuyimirira mu maaso g'Omukama w'ensi yonna.”
6
Embalaasi enzirugavu ne zigenda mu mambuka, ate enjeru ne zizivaako emabega, zo ez'amagondogondo ne zigenda mu maserengeta.
7
Embalaasi ez'amaanyi ne zivaayo nga zifuba okulaga wonna mu nsi. N'agamba nti: “Mugende muyite wonna mu nsi.” Ne ziyita wonna mu nsi.
8
N'ampita n'aŋŋamba nti: “Ezo ezigenze mu nsi y'emambuka ziwadde Mwoyo wange ekiwummulo mu nsi y'emambuka.”
9
Ekigambo ky'Omukama kyanzijira nti:
10
“Ggya ku bano abavudde mu buwaŋŋanguse, Keludayi, Tobiya, ne Yedaaya, abakomyewo okuva e Babiloni, ojje ku lunaku olwo mu nnyumba ya Yosiya mutabani wa Zefaniya.
11
Ddira ffeeza ne zaabu okole engule, ogisse ku mutwe gwa Yoswa mutabani wa Yozadaki, kabona omukulu.
12
Mugambe nti: Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Wuuno omusajja, erinnya lye ye 'Ttabi'; alimeruka okuva mu kifo kye n'azimba Ekiggwa ky'Omukama.
13
Y'oyo alizimba Ekiggwa ky'Omukama, oyo alijjula ekitiibwa; alituula n'afuga ku nnamulondo ye. Walibaawo ne kabona ku ddyo we, ate bombi balitegeeragana.
14
Era engule eriba ne ku Kelemu, ku Tobiya ne ku Keni mutabani wa Zefaniya, nga kye kijjukizo mu Kiggwa ky'Omukama.
15
N'abali ewala balijja ne bayamba ku kuzimba Ekiggwa ky'Omukama. Olwo mulimanya nti Omukama w'Amagye y'ansindise gye muli. Kino kirituukirira singa muliba mutaddeyo omwoyo okuwulira Omukama.’ ”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14