bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 7
Zechariah 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
Mu mwaka ogwokuna ogwa kabaka Dariyo, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Zakariya ku lwokuna olw'omwezi ogwomwenda, gwe mwezi Kisulevu.
2
Abantu b'e Beteli baali batumye Sareezeri, Regemu-Meleki ne basajja baabwe okuwanjagira Omukama,
3
babuuze ne bakabona b'Ekiggwa ky'Omukama w'Amagye n'abalanzi nti: “Nkungubage ko n'okusiiba mu mwezi ogwokutaano nga bwe nzize nkola emyaka mingi egiyise?”
4
Ekigambo ky'Omukama w'Amagye ne kinzijira nti:
5
“Buuza abantu bonna ab'omu ggwanga ne bakabona nti: ‘Bwe mwasiibanga ne mukaaba mu mwezi ogwokutaano n'ogwomusanvu emyaka gino gyonna ensanvu, mwasiibanga ku lwange?
6
Bwe mwalyanga ne munywa, temwalyanga ne munywa ku lwammwe?
7
Ebyo si bye bigambo Omukama bye yayogera ng'ayita mu balanzi abaakulembera, luli nga Yeruzaalemu n'ebibuga byakyo ebikyetoolodde bitebenkedde biri mirembe, ne Negevu ne Sefela nga bikyasengeddwamu?’ ”
8
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Zakariya nti:
9
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Mulamule mu butuufu, buli omu abeere wa kisa eri munne, amuddiremu.
10
Temunyigiriza nnamwandu, mulekwa, omugwira n'omwavu; mu mitima gyammwe buli muntu aleme kulowooleza munne bubi.’ ”
11
Naye tebaategereza, wabula ate baamukuba mabega nga bakola emputtu, ne baggala amatu gaabwe.
12
Emitima gyabwe ne bagigumya ng'ejjinja baleme kuwulira tteeka na bigambo Omukama w'Amagye bye yabasindikira mu Mwoyo we nga yeeyamba abalanzi abaasooka. Omukama w'Amagye n'anyiiga nnyo.
13
“Bwe nakoowoola, tebaawuliriza, nange nno bwe baakoowoola, saabawuliriza, Omukama w'Amagye y'agamba.
14
Nabasaasaanya ne kibuyaga mu mawanga wonna ge baali batamanyi. Ensi n'esigala matongo nga bagenze, nga tewakyali ajjamu na kuvaamu, bwe batyo ensi eyeegombebwa ne bagifuula ddungu.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14