bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 14
Zechariah 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
1
Olunaku lw'Omukama luulwo lujja, ebikunyagiddwako lwe birigabanirwa mu makkati go.
2
Nzija kukuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yeruzaalemu mu lutalo, ekibuga kirikwatibwa, ennyumba ne zinyagululwa, n'abakazi baligwagwawazibwa. Ekyokubiri eky'ekibuga kirigenda mu buwaŋŋanguse, kyokka abantu abalala abasigaddewo tebaliggyibwa mu kibuga.
3
Awo Omukama agenda kuvaayo alwanyise amawanga ago, nga bw'alwana ku lunaku olw'olutalo.
4
Ku olwo ebigere bye biriyimirira ku Lusozi lwa Oliva olutunuulidde Yeruzaalemu ebuvanjuba; olwo Olusozi lwa Oliva lulikutukamu ebitundu bibiri okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, wakati ne weesimawo olukonko olunene ennyo, ekitundu ky'olusozi ekimu ne kidda emambuka ate ekirala emaserengeta.
5
Ekiwonvu ky'ensozi kirijjula, kubanga ekiwonvu ky'ensozi kiriziba okutuukira ddala ku Azeli. Kiriziba nga bwe kyaziba olwa musisi mu mirembe gya Wuzziya kabaka wa Yuda. Awo Omukama Katonda wange alijja n'abatuukirivu bonna nga bali naye.
6
Ku olwo tewaliba kitangaala, wabula butiti na muzira.
7
Luliba lunaku lumu, Omukama kino akimanyi; tewaliba misana, tewaliba kiro, ne mu budde obw'akawungeezi ekitangaala kiribaayo.
8
Ku olwo amazzi amalamu galikulukuta nga gava mu Yeruzaalemu, ekitundu ekimu nga kiraga mu nnyanja ey'ebuvanjuba ate ekitundu ekirala mu nnyanja ey'ebugwanjuba, mu kyeya ne mu bw'empewo.
9
Omukama y'aliba kabaka ku nsi yonna. Ku olwo Omukama aliba omu, n'erinnya lye nga lye lyokka.
10
Ensi yonna erifuuka lusenyi okuva e Geba okutuuka e Rimmoni mu maserengeta ga Yeruzaalemu. Naye kyo Yeruzaalemu kirisigala waggulu mu kifo kye okuva mu Mulyango gwa Benyamiini okutuuka ku kifo awali Omulyango Ogusooka, n'okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda, n'okuva ku Munaala gwa Kananeli okutuuka ku masogolero ga kabaka.
11
Abantu balisengamu, tekiriddayo kuwongebwa okuzikirizibwa; Yeruzaalemu kirituula ntende.
12
Kino kye kibonerezo Omukama ky'alissa ku mawanga gonna agaalwanyisa Yeruzaalemu: Emibiri gyabwe girivunda ng'eno bakyayimiridde ku magulu gaabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu nkompe, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
13
Ku olwo Omukama alireeta akatabanguko kanene mu bantu, buli omu alibaka omukono gwa munne ne balwanagana.
14
Ne Yuda alirwanira e Yeruzaalemu; obugagga bw'amawanga gonna ageetoolodde awo bulikuŋŋaanyizibwa: zaabu, ffeeza n'engoye ebingi ennyo.
15
Ekibonerezo ekifaanana nga kino era kirigwira embalaasi, ennyumbu, eŋŋamiya, endogoyi n'ebisolo byonna ebiriba mu nsiisira.
16
Ate abaliba bawonyeewo mu mawanga gonna agaalumba Yeruzaalemu, balyambukanga buli mwaka basinze Kabaka, Omukama w'Amagye, bakuze Embaga y'Ensiisira.
17
Singa walibulayo mu bika by'ensi ayambuka e Yeruzaalemu okusinza Kabaka Omukama w'Amagye, tebaliba na nkuba.
18
Singa ebika by'omu Misiri tebiryambuka ne bijja, tebaliba na nkuba. Omukama alibaleetera ekibonerezo ky'atadde ku mawanga ago agatayambuka kukuza Mbaga ya Nsiisira.
19
Ekyo kye kiriba ekibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo ky'amawanga gonna agatayambuka kukuza Mbaga ya Nsiisira.
20
Ku olwo ku bide by'embalaasi kuliwandiikibwako nti 'Kitukuvu ku lw'Omukama'; n'entamu mu Kiggwa ky'Omukama ziriba ng'ebibya ebitukuvu ebiri mu maaso g'omwaliiro.
21
Buli ntamu mu Yeruzaalemu ne mu Yuda eriba ntukuvu ku lw'Omukama w'Amagye. Bonna abalijja okutambira baliziddiranga ne bafumbira omwo. Ku olwo mu Kiggwa ky'Omukama temuliddamu kubeeramu musuubuzi.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14