bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 12
Zechariah 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
1
Obubaka: Ekigambo ky'Omukama ku Yisirayeli ne ku Yuda. Omukama abamba eggulu, abangawo ensi n'akola omwoyo gw'omuntu mu muntu, agamba nti:
2
“Yeruzaalemu ŋŋenda kumukolamu ekikompe ekinaatamiiza abantu bonna abeetooloddewo. Kiribaawo mu kulumbibwa kwa Yuda ne mu kuzindibwa kwa Yeruzaalemu.
3
Ku olwo ndifuula Yeruzaalemu ejjinja ezzito eririrema abantu okusitula; abalirisitula balyetuusaako ebinuubule. Amawanga gonna ag'ensi galyekuŋŋaanya okumulwanyisa.
4
Ku olwo, Omukama y'agamba, buli mbalaasi ndigireetera okusattira, n'omwebagazi waayo ndimusuula eddalu. Eriiso lyange ndirissa ku Yuda, naye embalaasi zonna ez'amawanga ndiziziba amaaso.
5
Olwo abafuzi bonna mu Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti: ‘Abantu b'omu Yeruzaalemu ba maanyi kubanga Omukama w'Amagye ye Katonda waabwe.’
6
“Ku lunaku olwo ndifuula abafuzi ba Yuda ng'entamu eyengeredde ku nku, ng'ekitawuliro mu binywa by'essubi; balivaabira abantu bonna abeetooloddewo ku ddyo ne ku kkono, naye Yeruzaalemu kirisigala kikkalidde mu kifo kyakyo mu Yeruzaalemu.
7
Omukama alisooka kuwonya weema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abasula mu Yeruzaalemu bireme kuyisa Yuda.
8
Ku olwo Omukama alitaasa abasula mu Yeruzaalemu, asinga obunafu mu bo ku olwo aliba nga Dawudi, n'ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika w'Omukama abakulembeddemu.
9
“Ku olwo ndivaayo okuzikiriza amawanga gonna agajja okulumba Yeruzaalemu.
10
“Ndiyiwa ku nnyumba ya Dawudi ne ku bantu b'e Yeruzaalemu omwoyo omusaasizi n'ogw'okwegayirira. Balitunula kw'oyo gwe baafumita; balimukaabira ng'akaabira omwana omuzaale omu; balyaziirana ku lulwe ng'abaaziiranira omwana omuggulanda.
11
Ku olwo ebiwoobe biriba binene mu Yeruzaalemu, ng'ebiwoobe by'e Adadi-Rimmoni mu museetwe gw'e Megiddo.
12
Ensi eriwooba, buli maka gokka: amaka g'ennyumba ya Dawudi gokka, ne bakazi baabwe bokka; amaka g'ennyumba ya Natani gokka, ne bakazi baabwe bokka;
13
amaka g'ennyumba ya Leevi gokka, ne bakazi baabwe bokka; amaka ga Simeyi gokka, ne bakazi baabwe bokka;
14
amaka gonna agasigaddewo, buli maka gokka ne bakazi baabwe bokka.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14