bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zechariah 5
Zechariah 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
1
Bwe natunula era ne ndaba: waaliwo omuzingo ogubuuka mu bbanga.
2
N'aŋŋamba nti: “Olaba ki?” Ne ŋŋamba nti: “Ndaba omuzingo ogubuuka mu bbanga, nga gwa mikono amakumi abiri obuwanvu n'emikono kkumi obugazi.”
3
N'aŋŋamba nti: “Ekyo kye kikolimo ekigenda kibuna mu nsi yonna; kuba, nga bwe kigambye, buli mubbi wa kwerawo, era nga bwe kigambye, buli alayira eby'obulimba naye wa kwerawo.
4
Nzija kukisindika, Omukama w'Amagye y'agamba, kijja kuyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu y'oyo alayira mu linnya lyange eby'obulimba. Kijja kusigala mu nnyumba ye kigizikirize, na byombi embaawo zaakyo n'amayinja gaakyo.”
5
Awo malayika eyali ayogera nange n'afuluma, n'aŋŋamba nti: “Yimusa amaaso go olabe. Kiki ekyo ekiyitawo?”
6
Ne ŋŋamba nti: “Kiki ekyo?” N'aŋŋamba nti: “Kisero kye kiyitawo.” N'agamba nti: “Kino kye kibi kyabwe mu nsi yonna.”
7
Awo ekisaanikirako eky'essasi ne kibikkulibwa; munda mu kisero mwalimu omukazi ng'atudde.
8
N'agamba nti: “Ono bwe buseegu!” N'amusindika n'addayo munda, n'asaanikira n'amaanyi ekiyinja eky'essasi ku kamwa kaakyo.
9
Ne nsitula amaaso ne ndaba: waaliwo abakazi babiri nga bafuluma, ebiwaawaatiro byabwe nga bisitulwa empewo. Ebiwaawaatiro byabwe nga bifaanana ng'ebya ssekanyolya, ne basitula ekisero wakati w'ensi n'eggulu.
10
Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Bano ekisero bakitwala wa?”
11
N'aŋŋamba nti: “Mu nsi ya Sinari bakizimbire ennyumba. Bw'eriba emaliriziddwa, ekisero balikitereeza eyo mu kifo kyakyo.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14