bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 1
Hebrews 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Mu ngeri nnyingi ez'enjawulo edda, Katonda yayogereranga eri bajjajjaffe mu bannabbi,
2
naye mu nnaku zino ez'oluvannyuma ayogedde naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era mu ye mwe yatondera ebintu byonna.
3
Oyo alaga ekitiibwa kya Katonda era n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era abeezaawo buli kintu n'ekigambo eky'obuyinza bwe. Bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu;
4
ng'asingira ddala obukulu bamalayika bwe yaweebwa erinnya erisingira ddala agaabwe.
5
Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga mwana gye ndi?”
6
Era nate bw'aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti, “Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
7
Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be ennimi z'omuliro.”
8
Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo, ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obutuukirivu, gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
9
Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno.”
10
Era ayongera n'agamba nti, “Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo;
11
Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera; N'ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo;
12
Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa. Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.”
13
Ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?”
14
Bamalayika bonna si gy'emyoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi?
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13