bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 6
Hebrews 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
N'olwekyo katuleke ebyo ebisookerwako okuyigiriza Kristo, tweyongere mu kukula mu kukkiriza, kuba twabatekerawo dda omusingi ogw'okwenenya ebikolwa ebifu n'okukkiriza Katonda.
2
Twabayigiriza dda eby'okubatizibwa, eby'okussibwako emikono, eby'okuzuukira kw'abafu, n'eby'omusango ogutaggwaawo.
3
Era tunaakola bwe tutyo Katonda nga bw'anayagala.
4
Kubanga kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,
5
ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja,
6
ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya. Kuba baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.
7
Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala ebibala ebibasaanira abo ababirima, efuna mukisa okuva eri Katonda,
8
naye bw'ebala amaggwa n'amatovu, tesiimibwa era eba kumpi n'okukolimirwa, ku nkomerero ebimezeeko byokebwa.
9
Naye, abaagalwa, newakubadde twogedde bwe tutyo, mmwe tetubabuusabuusa, tumanyi nga mulina ebintu ebirungi ebiraga nga muli mu bulokozi.
10
Kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.
11
Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero;
12
mulemenga okubeera abagayaavu, naye mube ng'abo abakkiriza era abagumikiriza ne bafuna ebyasuubizibwa.
13
Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka
14
ng'ayogera nti, “Mazima ndikuwa omukisa, nnaakwazanga.”
15
Bw'atyo Ibulayimu bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa.
16
Kubanga abantu balayira asinga obukulu, era mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro bwe bukakafu obusalawo.
17
Ne Katonda bw'atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng'ayagala okukakasiza ddala abasika b'ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza.
18
Katonda yakikola bw'atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abaddukira gy'ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza.
19
Ebyo bye binyweza ddala emmeeme zaffe ng'essika ery'obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu, era eriyingira munda w'eggigi;
20
Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13