bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 13
Hebrews 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Okwagalana ng'ab'oluganda kweyongere.
2
Temwerabiranga kusembeza bagenyi: kubanga olw'okwo waaliwo abaasembeza bamalayika nga tebamanyi.
3
Mujjukirenga abasibe, ng'abasibirwa awamu nabo; era n'abalaba ennaku, kubanga nammwe muli mu mubiri.
4
Obufumbo bussibwemu ekitiibwa abantu bonna, n'ekitanda kibeere kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.
5
Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono.
6
Kye tuva twaŋŋanga okwogera n'obuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, ssiityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”
7
Mujjukirenga abakulembeze bammwe, abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe era mugobererenga okukkiriza kwabwe.
8
Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu okutuusa emirembe n'emirembe.
9
Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya, kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu.
10
Tulina ekyoto abaweereza eby'omu weema kye batalagirwa kuliirangako.
11
Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira.
12
Era ne Yesu kyeyava abonaabonera ebweru wa wankaaki, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe ye.
13
Kale tufulume okugenda gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ekivume kye.
14
Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja.
15
Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye.
16
Naye okukola obulungi n'okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng'ezo zimusanyusa nnyo Katonda.
17
Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, nga baliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu nga tebeemulugunya, kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.
18
Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo omulungi, nga twagala okubanga n'empisa ennungi mu byonna.
19
Era okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.
20
Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu,
21
abatuukirize mu buli kigambo ekirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
22
Naye mbabuulirira, ab'oluganda, mugumiikirizenga ekigambo eky'okubuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.
23
Mumanye nga ow'oluganda Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye.
24
Mulamuse abakulembeze bammwe bonna, n'abatukuvu bonna. Ab'omu Italiya babalamusizza.
25
Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13