bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 12
Hebrews 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Kale naffe, bwe tulina ekibiina eky'abajulirwa eky'enkana awo, twambulenga buli ekizitowa n'ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n'okugumiikiriza embiro eziteekeddwa mu maaso gaffe,
2
nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda.
3
Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi, mulemenga okukoowa, oba okuddirira mu mmeeme zammwe.
4
Temunnawakana okutuuka ku kuyiwa omusaayi gwammwe nga mulwana ne kibi.
5
Mwerabidde ebigambo ebibabuulirirwa ng'abaana, “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga;
6
Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza.”
7
Olw'okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza. Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki kitaawe gw'atakangavvula?
8
Naye bwe mutakangavvulwa nga n'abalala bwe bakangavvulwa, munaaba beebolereze, so si baana.
9
Twalina bakitaffe ab'omubiri abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa, tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w'emyoyo, ne tuba abalamu?
10
Kubanga bo baatukangavvuliranga ennaku si nnyingi olw'okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe.
11
Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku, naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye bibala eby'obutuukirivu.
12
Kale mugolole emikono gyammwe egikooye, n'amaviivi gammwe agakozimba;
13
era mukubirenga ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.
14
Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo tewali aliraba Mukama:
15
mulabe waleme kubaawo omuntu yenna asubwa ekisa kya Katonda, era mwekuume “ekikolo kyonna eky'okukaawa” kiremenga okuloka mu mmwe, okugwagwawaza abangi;
16
era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'akawumbo k'emmere akamu.
17
Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, tekyasoboka kubanga teyafuna bbanga lya kwenenyezaamu, newakubadde nga yagunoonya n'amaziga mangi.
18
Kubanga temuzze ku lusozi olukwatibwako era olwaka n'omuliro, n'eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga,
19
n'okuvuga kw'ekkondeere, n'eddoboozi ly'ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwako kigambo lwa kubiri;
20
kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti, “Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja,”
21
n'ebyalabika byali byantiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti, “Ntidde nnyo era nkankanye.”
22
Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky'omu ggulu, n'eri obukumi bwa bamalayika,
23
eri ekkuŋŋaaniro eddene era ekkanisa ey'ababereberye abaawandiikibwa mu ggulu, n'eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatuukirivu abaatuukirizibwa,
24
n'eri Yesu omubaka w'endagaano empya, n'eri omusaayi ogw'okumansira ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri.
25
Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng'ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng'ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka:
26
eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti, “Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu.”
27
N'ekyo, nti, “Ekyasigadde omulundi gumu,” kitegeeza okuggibwawo kw'ebyo ebikankanyizibwa, ng'ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo.
28
Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n'ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n'okwegendereza n'okutya,
29
Katonda waffe gwe muliro ogwokya.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13