bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 5
Hebrews 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
1
Kubanga buli kabona asinga obukulu, alondebwa okuva mu bantu, ateekebwawo okuweereza ku lwa bantu eri Katonda, okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi byabwe.
2
Ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu.
3
Era olw'obunafu obwo kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw'abantu.
4
Tewali muntu yenna ayinza okwetwalira ekitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni bwe yayitibwa.
5
Ne Kristo bwatyo, teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula yalondebwa oyo eyamugamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe;”
6
era nga bw'ayogera awalala nti, “Ggwe oli kabona emirembe gyonna, mu lubu lwa Merukizeddeeki.”
7
Yesu mu kiseera kye yabeerera mu mubiri, yasaba ne yeegayiriranga ng'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka na maziga, oyo eyayinza okumulokola mu kufa, era yawulirwa olw'okutya kwe Katonda.
8
Newakubadde nga yali Mwana wa Katonda, yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona;
9
awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensibuko y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera,
10
era bwe yalondebwa Katonda okuba kabona asinga obukulu mu lubu lwa Merukizeddeeki.
11
Waliwo bingi bye twandyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu.
12
Newakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kikyetaagisa okuddamu okubayigiriza ebisookerwako eby'ekigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere nkalubo.
13
Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu, aba akyali mwana muto.
14
Naye emmere enkalubo ya bakulu, abamaze okwetendeka ne bayiga okwawula ekirungi ku kibi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13