bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 8
Hebrews 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Kale mu bigambo byetwogera kino kye kinyusi: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw'atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu ggulu,
2
omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, etaazimbibwa bantu, wabula Mukama.
3
Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka, kye kiva kimugwanira ne kabona ono okubaako n'ekintu ky'awaayo.
4
Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, nga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng'amateeka bwe gali;
5
baweerereza mu kifaananyi na kisiikirize ky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga Katonda yamugamba nti, “Laba ng'okola byonna nga bwe byakulagiddwa ku lusozi.”
6
Naye kaakano bwe kiri, Yesu yaweebwa okuweereza okusinga obukulu, era n'endagaano gyalimu ng'omutabaganya y'esinga obulungi, kubanga era n'ebisuubizo byayo bye bisinga obulungi.
7
Kuba endagaano eri eyolubereberye singa teyaliiko kya kunenyezebwa, tewandibaddewo nsonga eyagaza ya kubiri.
8
Kubanga bw'abanenya ayogera nti, “Laba, ennaku zijja,” bw'ayogera Mukama, “Bwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda.
9
Si ng'endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe Ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'Emisiri; Kubanga abo tebaanywerera mu ndagaano yange, Nange ne ssibassaako mwoyo, bw'ayogera Mukama.
10
Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ezo. bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, Era ndigawandiika ku mutima gwabwe, Nange nnaabeeranga Katonda waabwe, Nabo banaabeeranga bantu bange.
11
Era tewaliba muntu aliyigiriza munne, oba muganda we, ng'agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku asinga obukulu.
12
Kubanga ndibasaasira mu butali butuukirivu bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate.”
13
Bw'ayogera ku ndagaano empya, kiba kitegeeza nti eyolubereberye aba agiddibizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiba kiri kumpi okuggwaawo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13