bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 9
Hebrews 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Era n'endagaano eyolubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez'okusinzanga Katonda, n'ekifo ekitukuvu, eky'omu nsi.
2
Weema yakolebwa nga erimu ebitundu bibiri, ekitundu ekimu nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky'ettaala, n'emmeeza n'emigaati egy'okulaga. Kino nga kiyitibwa Awatukuvu.
3
Era waliwo olutimbe olwokubiri ng'emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w'Awatukuvu.
4
Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ekya zaabu, n'essanduuko ey'endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emmaanu, n'omuggo gwa Alooni ogwaloka, n'ebipande eby'endagaano;
5
ne kungulu ku yo bakerubi ab'ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey'okusaasira; bye tutayinza kwogerako kaakano kinnakimu.
6
Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingiranga buli lunaku mu kitundu kya weema ekisooka okutuukirizanga emirimu egy'okuweereza;
7
naye mu kiri eky'okubiri, kabona asinga obukulu yekka, yayingirangamu omulundi gumu buli mwaka, era yagendangayo n'omusaayi gwe yawangayo ku lulwe n'olw'ebibi by'abantu bye baakolanga mu butamanya.
8
Omwoyo Omutukuvu atutegeeza nti, ng'ekkubo erituuka mu kifo ekitukuvu lyali terinnalabisibwa, ng'eweema eyolubereberye ekyayimiriddewo;
9
amakulu g'ebyo mu kiseera kino ge gano nti, ebirabo era ne ssaddaaka ebyaweebwangayo nga tebiyinza kutukuza mutima gw'oyo asinza.
10
Ebyo byakomanga ku ngulu, nga bifa ku kulya na kunywa na bulombolombo obw'okunaaba, okutuusa ku biro eby'okudda obuggya.
11
Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu ow'ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n'ayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno,
12
so si lwa musaayi gwa mbuzi n'ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo.
13
Kuba oba ng'omusaayi gw'embuzi n'ente ennume n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina ebibi, bitukuza okunaaza omubiri;
14
omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw'Omwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe okuva mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?
15
N'olwekyo Kristo ye kyava abeera omubaka w'endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaano eyolubereberye, abaayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw'obusika obutaggwaawo.
16
Kubanga awaba endagaano ey'obusika, kigwana okubaawo okufa kw'oyo eyagikola.
17
Kubanga endagaano ey'obusika ekola nga eyagikola amaze okufa, kubanga teba na makulu nga eyagikola akyali mulamu.
18
Era n'endagaano eyolubereberye teyakakasibwa awatali musaayi.
19
Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'ennyana n'embuzi, wamu n'amazzi n'ebyoya by'endiga ebimyufu n'ezobu, n'amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna,
20
ng'ayogera nti,“ Guno gwe musaayi gw'endagaano Katonda gye yabalagira.”
21
Era nate eweema n'ebintu byonna eby'okuweereza n'abimansirangako omusaayi bw'atyo.
22
Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.
23
Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kye biva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby'omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo.
24
Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n'emikono, ekyafaanana ng'ekyo eky'amazima; naye yayingira mu ggulu mwennyini, gy'ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe.
25
So si kwewangayo mirundi mingi; nga kabona asinga obukulu bw'ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka n'omusaayi ogutali gugwe;
26
kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw'ensi, naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe alyoke aggyewo ekibi olw'okwewaayo ye yennyini.
27
Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango;
28
era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogwokubiri awatali kibi eri abo abamulindirira olw'obulokozi.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13