bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 3
Hebrews 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze ku Yesu, Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'okukkiriza kwaffe.
2
eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda.
3
Naye Yesu asaana ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'omuzimbi w'ennyumba bw'abeera n'ekitiibwa okusinga ennyumba.
4
Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.
5
Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda, ng'omuweereza, okutegeeza ebintu ebyali bigenda okwogerwa,
6
naye Kristo yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda ng'omwana. naffe tuli nnyumba ye bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
7
Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'ayogera nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8
Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kiseera kye baajeemeramu, Nga ku lunaku lw'ebakemerwako mu ddungu,
9
Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza, Ne balaba ebikolwa byange emyaka ana (40).
10
Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti, ‘Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe, tebaategeera makubo gange.’
11
Nga bwe nnalayira mu busungu bwange, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange. ’ ”
12
Mwekuume, ab'oluganda, omutima omubi ogw'obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu.
13
Naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, nga bwe mukyalina ekiseera ekiyitibwa, “leero,” waleme okubaawo omuntu yenna ku mmwe okukakanyazibwa obulimba bw'ekibi.
14
Tunaaba tussa kimu mu Kristo, bwe tunanywereza ddala okusuubira kwaffe okutuusa ku nkomerero kwe twatandika nakwo,
15
nga bwe kikyayogerwa nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kiseera kye bajeemeeramu.”
16
Baani abo abaawulira, naye ne bajeema? Si beebo bonna abaava mu Misiri nga bakulemberwa Musa?
17
Era baani be yanyiigira okumala emyaka ana (40)? Si beebo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?
18
Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si beebo abataagonda?
19
Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw'obutakkiriza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13