bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 11
Hebrews 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Okukkiriza kwe kukakasa nti ebisuubirwa birituukirira, era n'obutabuusabuusa newakubadde nga tebinalabika.
2
Kubanga okukkiriza okwo kwavirako abantu ab'edda okusiimibwa Katonda.
3
Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ebirabika kye byava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika.
4
Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, n'ekimuweesa obutuukirivu, Katonda bwe yakkiriza ebirabo bye, era olw'ekyo newakubadde nga Abiri yafa, naye akyayogera.
5
Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa nga tayise mu kufa n'atalabika kubanga Katonda yamutwala, kubanga bwe yali nga tannamutwala, Katonda yategeeza nga bwe yamusiima.
6
Era awatali kukkiriza tekiyinzika kusanyusa Katonda, kubanga buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya.
7
Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya era mu kukkiriza n'azimba eryato olw'okulokola ennyumba ye, kye yava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
8
Olw'okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'agenda.
9
Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo,
10
kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba era kye yazimba.
11
Olw'okukkiriza era ne Saala yennyini n'aweebwa amaanyi okuba olubuto newakubadde nga yali ayitiridde mu myaka, kubanga oyo eyamusuubiza yamulowooza nga mwesigwa:
12
n'olwekyo okuva mu muntu omu eyali Afaanana ng'afudde, mwe mwava abantu abangi ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika.
13
Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa byabasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi.
14
Kubanga aboogera bwe batyo boolesa nga banoonya ensi ey'obutaka.
15
Era singa bajjukira ensi eri gye baavaamu, bandibadde n'ebbanga okuddayo.
16
Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu, Katonda kyava alema okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga.
17
Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yagezesebwa, yawaayo Isaaka omwana we eyazaalibwa omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa,
18
eyagambibwa nti,“ Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.”
19
Yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n'ayaniriza Isaaka ng'alinga azuukidde mu bafu.
20
Olw'okukkiriza Isaaka yasabira omukisa Yakobo ne Esawu, mu bigambo ebyali bigenda okujja.
21
Olw'okukkiriza Yakobo, bwe yali agenda okufa, yasabira omukisa abaana ba Yusufu bombiriri; n'asinza ng'akutamye ku musa gw'omuggo gwe.
22
Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira ku by'amagumba ge.
23
Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamulaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya kabaka.
24
Olw'okukkiriza Musa, bwe yakula, n'agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo;
25
ng'asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n'abantu ba Katonda okusinga okubanga mu kwesiima okw'ekibi okuggwaawo amangu;
26
ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yali asuubira empeera eyo.
27
Olw'okukkiriza n'aleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiikiriza ng'alaba oyo atalabika.
28
Olw'okukkiriza yakola Okuyitako n'okumansira omusaayi, eyazikiriza ababereberye be Misiri aleme nabo okubatwaliramu.
29
Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ng'abayita ku lukalu. Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo.
30
Olw'okukkiriza bbugwe wa Yeriko n'agwa, nga kimaze okwebungululwa okumala ennaku musanvu.
31
Olw'okukkiriza Lakabu omwenzi oyo teyazikiririra wamu n'abo abataagonda, bwe yasembeza abakessi emirembe.
32
Njogere ki nate? Kubanga ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa ne ku Dawudi, Samwiri ne bannabbi abalala.
33
Olw'okukkiriza abo be baawangula obwakabaka, be baakola eby'obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, be baabuniza obumwa bw'empologoma,
34
be baazikiza amaanyi g'omuliro, be badduka obwogi bw'ekitala, be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, be baafuuka abazira mu ntalo, be baagoba eggye ly'ab'amawanga.
35
Abakazi ne baweebwa abafu baabwe nga bazuukidde, n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi,
36
n'abalala ne baduulirwa ne bakubibwa, ne basibibwa ne bateekebwa mu kkomera.
37
Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala, baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi
38
n'ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi, nga beekweka mu mpuku ne mu bunnya obw'ensi.
39
Naye abantu abo bonna newakubadde bakakasibwa olw'okukkiriza kwabwe, tabafuna ekyasuubizibwa,
40
Kubanga Katonda yatulabira dda ffe ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13