bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 4
Hebrews 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
N'olwekyo ng'ekisuubizo eky'okuyingira mu kiwummulo kye nga bwe kikyaliwo, twekuume, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu.
2
Kubanga naffe twabuulirwa Enjiri, era nga bo, naye ekigambo kye baabuulirwa tekyabagasa bo, kubanga bwe baakiwulira tebakikkiriza.
3
Kubanga ffe abamaze okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti, “Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange,” newakubadde ng'emirimu gye gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi.
4
Kubanga waliwo w'ayogerera ku lunaku olw'omusanvu bw'ati, nti, “Katonda n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna;”
5
era nate ne mu kino nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”
6
Kale kubanga kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n'abo abaasooka okubuulirwa Enjiri tebaayingira olw'obujeemu.
7
Kyeyava nate ateekaawo olunaku oluyitibwa,“ leero,” nga bwe yayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi, mu bigambo bye tumaze okwogera waggulu, “Leero, bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.”
8
Kuba singa Yoswa yabawa ekiwummulo, Katonda teyandyogedde ate ku lunaku lulala.
9
Kale wakyaliyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.
10
Kubanga buli ayingira mu kiwummulo kya Katonda, era aba awummula emirimu gye, nga Katonda bwe yawummula egigye.
11
Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, waleme kubaawo omuntu yenna alemwa okuyingira olw'engeri ng'eyo ey'obujeemu.
12
Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima.
13
So tewali kitonde ekitalabika mu maaso ge, naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.
14
Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okukkiriza kwaffe.
15
Kubanga tulina Kabona Asinga obukulu alumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, so nga ye talina kibi.
16
Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa ekinatuyambanga mu kiseera nga twetaaga.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13