bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 7
Hebrews 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Kubanga oyo Merukizeddeeki, kabaka w'e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, yasisinkana Ibulayimu bwe yali ng'akomawo ng'ava okutta bakabaka, n'amusabira omukisa,
2
era Ibulayimu n'awa Merukizeddeeki ekitundu eky'ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya eryo litegeeza, kabaka ow'obutukirivu, era eky'okubiri, ye kabaka w'e Ssaalemi, ekitegeeza nti ye kabaka ow'emirembe;
3
atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda, abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna.
4
Kale mulowooze omuntu oyo bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajja omukulu gwe yawa ekitundu eky'ekkumi ku munyago gwe yali afunye.
5
N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby'ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubaddenga bo n'abo baava mu Ibulayimu.
6
Naye oyo, atali wa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky'ekkumi okuva ku Ibulayimu n'amusabira omukisa ogw'oyo eyalina ebyasuubizibwa.
7
Naye, tekyegaanika n'akatono, omukulu yasabira omuto omukisa.
8
Mu ngeri emu, abaweebwa ebitundu eby'ekkumi be bantu abafa, naye mu ngeri endala kiweebwa eri oyo ategeezebwa nga mulamu.
9
Tuyinza era okugamba nti ne Leevi, aweebwa ekimu eky'ekkumi, yawaayo ekikye nga ayita mu Ibulayimu;
10
kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.
11
Kale okutuukirira singa kwaliwo lwa bwakabona obw'Abaleevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo, kiki ekyetaaza nate kabona ow'okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni?
12
Kubanga obwakabona bwe bukyusibwa era n'amateeka tegalema kukyusibwa.
13
Kubanga oyo eyayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutavanga muntu yenna eyali aweerezza ku kyoto.
14
Kubanga kitegeerekese nga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky'atayogerako bigambo bya bakabona.
15
Era kitegeerekeka nga wazeewo kabona omulala ali mu kifaananyi kya Merukizeddeeki,
16
afuuse kabona si mu mateeka nga bwe galagira abe nga ava mu lubu lwa buzaale, naye avudde mu maanyi ag'obulamu obutaggwaawo.
17
Kubanga Kristo ayogerwako nti, “Oli kabona okutuusa emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.”
18
Kubanga ekiragiro ekyasooka kijjulukuka olw'obunafu n'obutagasa bwakyo,
19
kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza, essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda.
20
Era kino tekyakolebwa watali kulayira kirayiro.
21
Kubanga abo baafuulibwanga bakabona awatali kirayiro; naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro ng'ayita mu oyo amwogerako nti, “Mukama yalayira, era talyejjusa, Oli kabona okutuusa emirembe gyonna.”
22
Era ne Yesu bw'atyo bw'afuuka omuyima w'endagaano esinga obulungi.
23
Bakabona baali bangi kubanga baafanga nga tebayinza kubeerawo bbanga lyonna.
24
Naye kubanga ye Yesu abeerera emirembe gyonna, kyava alina obwakabona obutavaawo.
25
Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.
26
N'olwekyo kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu;
27
atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.
28
Kubanga amateeka gaalondanga abantu okuba bakabona abasinga obukulu, n'obunafu bwabwe, naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13