bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 2
Hebrews 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
Kyekivudde kitugwanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako.
2
Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ebisaanira,
3
ffe tuliwona tutya bwe tulagajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;
4
era Katonda n'akakasiza ddala bye baayogeranga mu bubonero ne mu by'ekitalo ne mu by'amagero ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, bye yagaba nga bwe yayagala.
5
Kubanga bamalayika si be bagenda okufuga ensi egenda okubaawo, gye twogerako.
6
Waliwo ekifo mu byawandiikibwa omu we yategeereza, ng'ayogera nti, “Omuntu kye ki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ye ani ggwe okumujjira?
7
Wamussa akaseera katono obuteenkana nga bamalayika; Wamussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, N'omufuza emirimu egy'emikono gyo:
8
Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye.” Bwe yateeka ebintu byonna wansi we, tewali kintu kyonna kyatamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
9
Naye tulaba Yesu, eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw'ekisa kya Katonda yabonaabona n'afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n'alyoka atikirwa engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
10
N'olwekyo kyasaanira nti ye, ku bubwe era mu ye ebintu byonna mwe bibeererawo, olw'okuleeta abaana abangi mu kitiibwa, asooke okutuukiriza obulokozi bwabwe ng'ayita mu kubonaabona.
11
Kubanga oyo atukuza era n'abo abaatukuzibwa bava mu omu bonna, kyava takwatibwa nsonyi kubayita baganda be.
12
ng'ayogera nti, “Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikutenderereza wakati mu kkuŋŋaaniro.”
13
Era awalala agamba nti, “Nze nnaamwesiganga oyo.” Era ne yeyongera n'agamba nti, “Laba nze n'abaana Katonda be yampa.”
14
Olw'okubanga abaana balina omubiri n'omusaayi, naye yalina omubiri n'omusaayi, nga ayita mu kufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;
15
era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.
16
Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu.
17
Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda olw'okutangirira ebibi by'abantu.
18
Kubanga ye yennyini yabonaabona ng'akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13