bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hebrews 10
Hebrews 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Kubanga amateeka bwe gali ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka, nga teziyinza kutukuza abo abazisemberera.
2
Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo? Kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu, tebandibadde na kwetegeerako bibi nate.
3
Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka.
4
Kubanga tekiyinzika omusaayi gw'ente ennume n'embuzi okuggyawo ebibi.
5
Kristo ng'ajja mu nsi, kye yava ayogera nti, “Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omubiri;
6
Tewasiima ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi;
7
Ne ndyoka njogera nti,‘ Laba, nzize okukola by'oyagala, ayi Katonda,’ Nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw'ekitabo.”
8
Bw'ayogera waggulu nti, “Ssaddaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng'amateeka bwe gali,”
9
n'alyoka ayogera nti, “Laba, nzize okukola by'oyagala.” Aggyawo eky'olubereberye, alyoke anyweze eky'okubiri.
10
Mu ebyo by'ayagala twatukuzibwa olw'okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu.
11
Na buli kabona ayimirira buli lunaku ng'aweereza ng'awaayo emirundi emingi ssaddaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kuggyako bibi emirembe gyonna,
12
naye oyo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka emu olw'ebibi okutuusa emirembe gyonna, n'alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;
13
ng'alindirira oluvannyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey'ebigere bye.
14
Kubanga olw'okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abo abaatukuzibwa.
15
Era n'Omwoyo Omutukuvu ye mujulirwa gyetuli: kubanga bw'amala okwogera nti,
16
“Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika;” n'alyoka ayogera nti,
17
“N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.”
18
Naye awali okuggyibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw'ekibi.
19
Kale ab'oluganda, nga bwe tulina obugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw'omusaayi gwa Yesu,
20
mu kkubo lye yatukubira, eriggya eddamu, eriyita mu ggigi, gwe mubiri gwe;
21
era nga bwe tulina kabona omunene afuga ennyumba ya Katonda;
22
tusemberenga n'omwoyo ogw'amazima olw'okukkiriza okutuukiridde, emitima gyaffe nga gimansirwako okuggyamu omwoyo omubi, n'emibiri gyaffe nga ginaazibwa n'amazzi amalungi.
23
Tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa,
24
era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n'ebikolwa ebirungi;
25
obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira, era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba Olunaku luli nga lunaatera okutuuka.
26
Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw'ebibi,
27
wabula okulindirira n'okutya okusalirwa omusango, n'omuliro ogw'amaanyi ogugenda okwokya abalabe.
28
Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu,
29
mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa?
30
Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti, “Nze ndiwoolera eggwanga, Nze ndisasula.” Era nate nti, “Mukama yalisalira omusango abantu be.”
31
Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.
32
Naye mujjukire ennaku ez'edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okubonyaabonyezebwa okw'amaanyi.
33
Oluusi mwafuuka ekyerolerwa n'emuvumibwa, n'emuyigganyizibwa, olulala ne mussa kimu n'abo abaabonaabona nga mmwe.
34
Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby'olubeerera.
35
Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene.
36
Kubanga mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.
37
“Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka, so talirwa.
38
Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza, Era bw'addayo emabega, emmeeme yange temusanyukira.”
39
Naye ffe tetuli mu abo abadda emabega mu kuzikirira, naye tuli mu abo abakkiriza okulokola obulamu bwabwe.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13