bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 1
Hosea 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
1
Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Koseya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri.
2
Mukama bwe yatandika okwogera ng'ayita mu Koseya, Mukama yagamba Koseya nti, “Genda owase omukazi ow'obwenzi, ozaale n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obususse, ng'eva ku Mukama.”
3
Awo Koseya n'agenda n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri muwala wa Dibulayimu; Gomeri n'aba olubuto n'amuzaalira omwana wa bulenzi.
4
Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mbonereze ab'ennyumba ya Yeeku, olw'omusaayi gw'abantu, Yeeku be yattira e Yezuleeri. Era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri.
5
Awo olulituuka ku lunaku olwo ndimenya omutego gwa Isiraeri mu kiwonvu kya Yezuleeri.”
6
Awo Gomeri n'aba olubuto olwokubiri n'azaala omwana wa buwala. Awo Mukama n'amugamba nti, “Mutuume erinnya lye Lolukama; kubanga sikyakwatirwa kisa nnyumba ya Isiraeri, wadde okubasonyiwa n'akatono.
7
Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era nze Mukama Katonda waabwe, ndibalokola ne mbawonnya; so siribalokola na mutego, newakubadde ekitala, newakubadde olutalo, newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde.”
8
Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi.
9
Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya Lowami; kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.”
10
Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo, Katonda mwe yabaagambira nti, “Mmwe temuli bantu bange,” awo walibagambira nti, “Mmwe muli baana ba Katonda omulamu.”
11
Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omukulembeze omu, era balitambula okuva mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14