bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 6
Hosea 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
1
“Mujje tudde eri Mukama; kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya; ye yatufumita; era ye alitunyiga.
2
Oluvannyuma lwe nnaku bbiri alituzaamu obulamu, ku lunaku olwokusatu alitusitula, tulyoke tubeera balamu mu maaso ge.
3
Tusobozese okumanya, tusobozese okunyiikira okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkakakkalira ng'enkya; alijja gyetuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi bwefukirira ettaka.”
4
Naakukola ntya, ayi Efulayimu? Naakukola ntya ayi Yuda? Okwagala kwo kuliŋŋaanga ekire eky'enkya, ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali.
5
N'olwekyo mbatemyeteme nga nkozesa bannabbi, mbassiza ne bigambo eby'omu kamwa kange, era n'omusango gwange galiŋŋaanga ekitangaala.
6
Kubanga njagala okwagala okutuukiridde so si ssaddaaka; okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7
Naye bo, era nga Adamu basobezza endagaano: era bankuusizzakuusizza.
8
Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi.
9
Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe biteega omusajja, bw'ekityo n'ekibiina ekya bakabona bwe kyekuŋŋaanya awamu; batemulira abantu mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obutemu.
10
“ Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve; obwenzi bwa Efulayimu buli eyo, Isiraeri ayonoonese.
11
Era naawe, ayi Yuda, okukungula kutegekeddwa, bwe ndikomyawo emikisa gy'abantu bange.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14