bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 5
Hosea 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
1
Muwulire kino, mmwe bakabona! era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka! musaliddwa omusango okubasinga mmwe; kubanga mwafuuka ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa n'ekitegebwa ku Taboli.
2
Era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza bonna.
3
Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa; kubanga kaakano, ayi Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiraeri ayonoonese.
4
Ebikolwa byabwe tebibaganya kukyukira Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama.
5
Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa mu maaso ge; Efulayimu alyesittala olw'omusango ggwe; Yuda alyesittalira wamu nabo.
6
Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama, naye tebalimulaba; kubanga abavuddeko.
7
Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana abatali babe; kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.
8
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama, mulaye eŋŋoma e Besaveni; mukankane ayi Benyamini.
9
Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okuweerwako ekibonerezo; wakati mu bika bya Isiraeri nnangirira ebikakafu.
10
Abakungu ba Yuda baafuse ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo; kubo ndibayiwako obusungu bwange ng'amazzi.
11
Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okugoberera ebitaliimu.
12
Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda.
13
Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka omukulu, kyokka tayinza kubawonya, wadde okuvumula ekiwundu kyammwe.
14
Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento, eri ennyumba ya Yuda; nze, nze mwene, nditaagulataagula ne nvaawo; ndibatwalira ddala so tewaliba wa kubawonya.
15
Ndiddayo nate mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange, era mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya nga bagamba nti:
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14