bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 4
Hosea 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
1
“Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri,” kubanga Mukama alina empaka n'abantu abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde ekisa, era tewali kumanya Katonda mu nsi.
2
Ekiriwo kwe kulayira, okulimba, okutta, okubba n'okwenda; bamenya buli ebibasiba, era obutemu buddirira obutemu.
3
Ensi kyeriva ekungubaga, na buli muntu agituulamu aliyongobera, ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga; weewaawo, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja bijjiddwawo.
4
Waleme okubaawo okuwakana era waleme kubaawo anenya, kubanga okuwakana kwange kuli naawe Ggwe kabona.
5
Olyesitala emisana, era nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro, era ndizikiriza nnyoko.
6
Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya; kubanga ogaanyi okumanya, nange ndikugaana ggwe, oleme okubeera kabona wange, kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.
7
“Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange; ndikyusa ekitiibwa kyabwe ne nkifuula ensonyi.
8
Ekibi ky'abantu bange, kiri nga emmere gyebali, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe.
9
Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe batyo bwe bali: era ndibabonereza olw'empisa zaabwe, era ndibasasula olw'ebikolwa byabwe.
10
Balirya naye tebalikkuta; balyenda so tebalyala, kubanga banvuddeko nze Mukama, ne basinza ba katonda abalala.”
11
Omwenge omusu n'omukulu bimalawo okutegeera.
12
Abantu bange beebuuza ku bintu eby'emiti, era n'omuggo gwabwe bibabuulire ebya Katonda, kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era balese Katonda waabwe ne bagenda mu bwenzi.
13
Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti: Emivule, Emiribine n'Emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: abawala bammwe kyebaava beefuula abenzi, era n'abagole bammwe benda.
14
Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde abagole bammwe bwe bakabawala; kubanga abasajja bennyini mudda wabbali n'abakazi abenzi ne muweerayo ssaddaaka n'abenzi b'omu biggwa, era abantu abatalina kutegeera balizikirira.
15
Newakubadde nga weefuula omwenzi, Ggwe, Isiraeri, leka Yuda aleme kusingibwa musango. Temuyingiranga mu Girugaali, wadde okugenda e Besaveni, so temulayiranga nti, “ Nga Mukama bw'ali omulamu.”
16
Ng'enduusi endalulalu, Isiraeri mulalulalu; kaakano Mukama asobola okubaliisa ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi?
17
Efulayimu yeegasse n'ebifaananyi, muleke asigale nga bwali.
18
Ekibinja ky'abatamivu, beewaddeyo eri obwenzi; baagala nnyo ensonyi, okusinga bwe baagala ekitiibwa.
19
Empewo ebasanikidde mu biwaawaatiro byayo, era balikwatibwa ensonyi olw'ebyoto byabwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14