bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 10
Hosea 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 11 →
1
Isiraeri muzabbibu ogubala ennyo, ng'ebibala bye bwe byeyongeranga obungi, bw'atyo naye gyeyakoma okuzimba ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, n'empagi ze gyezeyongera okuba ennungi.
2
Omutima gwabwe mulimba, kaakano balina okwettika omusango gwe. Katonda ajja kumenyawo ebyoto byabwe, era azikirize n'empagi zaabwe.
3
Mazima kaakano banaayogera nti, “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki?”
4
Boogera bigambo bugambo, nga balayira eby'obulimba baalagaana endagaano; ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro.
5
Abali mu Samaliya bakankana olw'ennyana ey'e Besaveni. Abantu baakyo baligikungubagira, ne bakabona baakyo abasinza ebifaananyi baligiwuubaalira, olw'ekitiibwa kyayo ekigivuddeko.
6
Yee, ekintu ekyo kiritwalibwa e Bwasuli, ng'ekirabo kya kabaka omukulu. Efulayimu aliswazibwa, ne Isiraeri alikwatibwa ensonyi olw'ekifaananyi kye.
7
Kabaka w'e Samaliya alizikirira, ng'ekibajjo ky'omuti kungulu ku mazzi.
8
Ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birisanyizibwawo; amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe, era baligamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n'obusozi nti, “Mutugweko.”
9
Okuva mu nnaku za Gibeya, wayonoona, ayi Isiraeri, eyo gye beyongerera. Olutalo terulibakwatira e Gibeya?
10
Ndirumba abantu bano aboonoonyi ne mbakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, era balibonerezebwa olw'okusobya kwabwe okunene.
11
Efulayimu nte nduusi eyigirizibbwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano; era nditaliza ensingo ye ennungi, naye nditeeka Efulayimu ku kikoligo, Yuda alikabala ne Yakobo alikuba amavuunike.
12
Mwesigire obutuukirivu, mukungule okwagala okwannamaddala; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesezaako obutuukirivu.
13
Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba kubanga weesiganga amagaali go, n'abasajja bo abalwanyi ab'amaanyi.
14
N'olwekyo oluyoogaano olw'olutalo lulisituka mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birizikirizibwa nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo, era nnyaabwe lwe yatandaggirwa wamu n'abaana be.
15
Bw'ekityo bwe kirikukolebwa, ayi ennyumba ya Isiraeri, olw'okwonoonakwo okunene. Mu mayengo kabaka wa Isiraeri alisalirwako ddala.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14