bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 8
Hosea 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
1
Teeka ekkondeere ku mumwa gwo, kubanga ensega eri waggulu ku nnyumba ya Mukama, kubanga bamenye endagaano yange, era bajeemedde amateeka gange.
2
Balinkaabira nga bagamba nti, Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi.
3
Isiraeri asudde ekirungi; omulabe alibayigganya.
4
Baatekawo bakabaka naye nga tebayise mu nze; baalonda abakungu nga sitegedde. Mu ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe beekoledde ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira.
5
Ŋŋaanyi ennyana yo, ayi Samaliya; obusungu bwange bubabuubuukirako, kinaatwala bbanga ki bonna okuba abalongoofu,
6
mu Isiraeri? Omukozi ye yakikola; so si Katonda. Ennyana ye Samaliya erimenyebwamenyebwa.
7
Kubanga basiga mbuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu. Eŋŋaano eyimiridde terina birimba, kale teyinza kubala mmere; singa yali yakubala, bannamawanga bandigiridde.
8
Isiraeri amiriddwa ddala, kaakano bali mu mawanga ng'ekibya ekitaliiko kye kigasa.
9
Kubanga bambuse eri Obwasuli, ng'entulege etambulatambula yokka; Efulayimu aguliridde baganzi be.
10
Weewaawo, newakubadde nga bagulirira ababayambako mu mawanga, mangu nnyo nja kubakuŋŋaanya; era balisirikiriramu ekiseera okufuka amafuta ku ba kabaka n'abalangira.
11
Kubanga Efulayimu ayongedde okuzimba ebyoto ebireeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy'ali eby'okumuleetera okwonoona.
12
Newakubadde nga mmuwandiikira amateeka gange enkumi ne nkumi, bandigatutte nga amagwira.
13
Baagala ssaddaaka; bassaddaka ennyama era ne bagirya; naye Mukama tabasanyukira, kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe era n'ababonereza olw'ebibi byabwe; baliddayo mu Misiri.
14
Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, era azimbye embiri; Yuda azimbye ebibuga bingi ebiriko enkomera, naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14