bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 9
Hosea 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
1
Tosanyuka, ayi Isiraeri! Temusanyuka ng'abantu abalala; kubanga oyenze n'okuva ku Katonda wo, oyagadde empeera y'omwenzi ku buli gguuliro.
2
Egguuliro n'essogolero tebiribalisa, era n'omwenge omusu gulimuggwaako.
3
Tebalisigala mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era banaalyanga emmere eteri nnongoofu.
4
Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama; era tebalimusanyusa ne ssaddaaka zaabwe. Emigaati gyabwe giriba nga emigaati gy'abakungubazi, bonna abanaagiryangako banaabanga abatali balongoofu; kubanga emigaati gyabwe ginaabanga gya kuwonya njala yaabwe kyokka; tegitwalibwenga mu nnyumba ya Mukama.
5
Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama?
6
Kubanga, laba, bagenda mu Bwasuli; Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika. Omwennyango gulyemala ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'amaggwa galibeera mu n'eweema zaabwe.
7
Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya. Nnabbi musirusiru, omusajja aliko omwoyo alaluse, olw'obutali butuukirivu bwammwe obungi, era n'obukyayi obungi.
8
Nnabbi ye mukuumi wa Efulayimu, abantu ba Katonda wange, songa ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda.
9
Beeyonoonye nnyo nnyini, nga mu nnaku ez'e Gibeya, Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe.
10
Nga emizabbibu mu ddungu, bwe n'asanga Isiraeri, ng'ebibala ebisooka okwengera ku mutiini, mu mwaka gwagwo ogwolubereberye, bwe nnalaba bajjajjammwe. Naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira Baali, ne bafuuka eky'omuzizo ng'ekyo kye baayagala.
11
Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ng'ekinnyonyi; tewaliba kuzaala, newakubadde okubeera olubuto, wadde okufuna olubuto.
12
Newakubadde nga baliba balera abaana baabwe, era naye ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu n'omu, weewaawo, ziribasanga bwe ndibavaako!
13
Abaana ba Efulayimu, nga bwendaba, baategekeddwa okuliibwa; Efulayimu ateekeddwa okukulembera abaana be bagende battibwe.
14
Bawe ayi Mukama, olibawa ki? Bawe olubuto oluvaamu n'amabeere agataliimu mata.
15
Buli bubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; eyo gye natandikira okubakyawa. Olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange, siribaagala nate, abakungu baabwe bonna bajeemu.
16
Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala, weewaawo, newakubadde nga bazaala, era naye nditta abaana baabwe abaagalwa.
17
Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira, era baliba mmomboze mu mawanga.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14