bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 2
Hosea 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
1
Mugambe baganda bammwe nti, “Ami,” era mugambe bannyinammwe nti, “Lukama.”
2
“Mwegayirire nnyammwe, mwegayirire, kubanga si mukazi wange, so nange siri bba, nti aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge;
3
nneme okumwambula, ne muleka bwereere nga bwe yali ku lunaku lwe yazaalirwako, ne mmufuula ng'ensi enkalu ey'eddungu, ne mmussa ennyonta;
4
weewaawo, n'abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi.
5
Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi; eyabazaala yawemuka, bwe yayogera nti,‘Ndigenda ne baganzi bange abampa emmere, n'amazzi, ebyoya by'endiga n'obugoogwa, amafuta n'eby'okunywa.’
6
Kale, laba, ndiziba ekkubo lye n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba w'ayita.
7
Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n'alyoka ayogera nti, ‘Nja kuddayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo n'abeeranga bulungi okusinga kaakano.’
8
Kubanga teyamanya nga nze n'amuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye yawangayo mu kusinza Baali.
9
Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne mmuggyako ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze.
10
Ndimwambula n'asigala bwereere mu maaso ga baganzi be, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange.
11
Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne Ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe okutukuvu kwonna.
12
Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti, Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde, era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya.
13
Era ndimubonereza olw'ennaku z'embaga za Baali, ze yayotererezangamu obubaane; ne yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be,” bw'ayogera Mukama.
14
“Kale, laba, ndimusendasenda, ne mmutwala mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa.
15
Era nga tuli eyo, ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu, era ndifuula ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira. Era nga tuli eyo, aliddamu nga mu nnaku ez'omubuto bwe, era nga mu nnaku ze yaviiramu e Misiri.
16
Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama, olimpita Isi; so tokyampita Baali.
17
Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa mannya gaabwe nakatono.
18
Awo ku lunaku olwo ndiragaana endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu ebyewalula ku ttaka, biremenga kukola kabi bantu bange. Era ndiggyawo omutego, n'ekitala n'entalo okuva mu nsi, era ndibaleka ne mugalamira mirembe.
19
Era ndikwogereza obe wange ennaku zonna; weewaawo, ndikweyogerereza mu butuukirivu ne mu mazima, ne mu ku kusaasira.
20
Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.
21
“Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, ndiddamu eggulu era nalyo liriddamu ensi;
22
era ensi eriddamu eŋŋaano, omwenge, n'amafuta; era nabyo biriddamu Yezuleeri.
23
Era ndimwesigira mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti, ‘Mmwe muli bantu bange,’ nabo balyogera nti,‘ Ggwe oli Katonda wange.’ ”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14