bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Hosea 11
Hosea 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
1
Isiraeri bwe yali omwana omuto, n'amwagala, era okuva mu Misiri n'ayita mutabani wange.
2
Gye nakoma okubayita, bwe batyo n'abo gye bakoma okunvaako; baasigala baawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.
3
So nga yali nze eyayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaamanya nga nze n'abawonya.
4
Nabawalula n'emigwa egy'okusaasira, n'ebisiba eby'okwagala, era nabafuukira ng'oyo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, n'akutama ne mbaliisa.
5
Baliddayo mu nsi y'e Misiri; era Omwasuli ye aliba kabaka waabwe, kubanga baagaana okudda gye ndi.
6
Ekitala kirigwa ku bibuga byabwe, kirirya ebyuma by'enzigi zaabwe, era kiribamalawo mu bigo byabwe.
7
Abantu bange bamaliridde okudda emabega okunvaako; beewaddeyo eri ekikoligo, era tewali alikibaggyako.
8
Nnaakuvaamu ntya, ayi Efulayimu! Nnaakuwaayo ntya, ayi Isiraeri! Nnaakufuula ntya nga Aduma! Nnaakuyisa ntya Zeboyimu! Omutima gwange gunyikaala munda yange, okusaasira kwange kwa bbugumu ate kwa gonjebwa.
9
Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siriddayo kuzikiriza Efulayimu; kubanga ndi Katonda so siri muntu; nze Omutukuvu ndi wakati wo, sirijja ku kuzikiriza.
10
Balitambula okugoberera Mukama, era aliwuluguma ng'empologoma; ye, aliwuluguma, era batabani be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11
Balijja nga bakankana ng'ennyonyi eziva mu Misiri, era ng'ejjiba eriva mu nsi y'e Bwasuli, era ndibazzaayo mu nnyumba zaabwe, bw'ayogera Mukama.
12
Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa, naye Yuda akyamanyiddwa Katonda, era akyali mwesigwa eri Omutukuvu.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14